
ozil
OMUTENDESI wa Arsenal, Unai Emery ali ku puleesa, y'okutunda abamu ku bassita baayo, ttiimu ereme kugenda mu loosi.
Arsenal, si yaakuzannya Champions League sizoni ejja era kigambibwa nti abakungu baayo baawadde Emery obukadde bwa pawundi 45 mw'aba yeetetenkanyiza mu kugula abazannyi mu katale kano akayinda. Kyokka kigambibwa nti erinayo ebbanja ly'obukadde bwa pawundi 50 ery'omusolo era abakungu ba ttiimu bagamba nti obutafiirizibwa, erina kutunda bassita abamu efune ku nsimbi.
Mu sizoni ya Arsene Wenger eyasemba ng'atendeka Arsenal, yatunda abazannyi okuli; Alex Oxlade-Chamberlain, Theo Walcott ne Olivier Giroud n'agula Pierre-Emerick Aubameyang ne Alexandre Lacazette kyokka ku luno eviiriddwaako Aaron Ramsey, Petr Cech ne Danny Welbeck wabula nga bo bagendedde ku bwereere.
Wano abamu we batandikidde okugamba omutendesi Emery atunde Mesut Ozil bamufunemu ensimbi kuba ne sizoni ewedde, abadde ayaka ku mipiira gimu na gimu. Ozil, y'asinga okusasulwa mu Arsenal ku pawundi 350,000 buli wiiki.