TOP

'Okukotoggera abaana mu mizannyo kuba kuziika ttalanta zaabwe'

Added 17th June 2019

Ennyumba ya Muteesa yeetisse ez'emizannyo mu Ndejje SS

 Patrick Kanyomozi, owa USPA (ku kkono) ng'akwasa ab'ennyumba ya Muteesa ekikopo

Patrick Kanyomozi, owa USPA (ku kkono) ng'akwasa ab'ennyumba ya Muteesa ekikopo

Bya Samuel Kanyike           

PULEZIDENTI w'ekibiina kya bannamawulire abasaka ag'emizannyo ekya Uganda Sports Press Association, Patrick Kanyomozi asabye abasomesa n'abazadde obutakotoggera baana baabwe nga babakugira okwenyigira mu by'emizannyo,  kuba baba baziika ttalanta zaabwe.

Yasiinzidde ku ssomero lya Ndejje SS, mu Luweero, mu mpaka z'emizannyo, n'agamba nti mu nsi nga Uganda awatali akademi za mizannyo,  amasomero ge gayamba okukulaakulanya ttalanta, n'asaba n'abayizi obutasuulirira bitone.

Yagambye nti emizannyo tegikosa kusoma wabula okwongera ebinnonoggo ku muyizi kuba bannabyamizannyo bangi nga ba dokita, balooya n'abasuubuzi abayoola ensimbi.

Muteesa ye yawangudde empaka zino n'eweebwa ekikopo ne sseddume w'ente, n'eddirirwa Muyingo eyaweereddwa ekikopo ne kimeeme w'embuzi.

Omukulu w'essomero lya Ndejje SS, Dr. Charles Kahigiriza, yategeezezza nti essomero lino lifutiza amalala mu ggwanga mu basketball, cricket n'emizannyo emirala, era nti bakkiriza abaana okukulaakulanya ttalanta zaabwe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...