TOP

AFCON2019; Senegal yeesize Mane okuyita ku Algeria

Added 27th June 2019

Leero mu mpaka za Afrika; Madagascra ne Burundi, 11:30 Senegal ne Algeria, 2:00 Kenya ne Tanzania, 5:00

 Mahrez (ku ddyo) n’bazannyi ba Algeria oluvannyuma lw’omupiira gwa Kenya

Mahrez (ku ddyo) n’bazannyi ba Algeria oluvannyuma lw’omupiira gwa Kenya

 

Leero mu mpaka za Afrika;
Madagascra ne Burundi, 11:30
Senegal ne Algeria, 2:00
Kenya ne Tanzania, 5:00
 
MADAGASCAR NE BURUNDI (11:30 AKAWUNGEEZI)
Eno y'egenda okubeera ensisinkano yaabwe esoose mu byafaayo. Ttiimu zombi ziri mu kibinja ekyokubiri nga buli omu enkya agenda kuzannya omupiira gwe ogwokubiri mu kibinja.
 
Egyasoose, Burundi yakubiddwa Nigeria (1-0) ate Madagascar n'eremagana ne Guinea (2-2). Madagascar, awava pulezidenti wa CAF, Ahmad Ahmad ne Burundi, zombi zizannya mu mpaka zino eza Afrika omulundi gwazo ogusooka ng'okutangaaza emikisa gy'okuva mu kibinja okugenda ku luzannya oluddako olwa ttiimu 16, buli ttiimu yaakuyingira ensiike ng'etunuulidde buwanguzi.
 
Kapiteeni wa Burundi, Saido Berahino azannyira mu Stoke City mu Bungereza asuubirwa okuddamu okukulembera ekyoto oluvannyuma lw'okussuuka obukosefu bwe yafunye ku gwa Nigeria era asuubirwa okuyambibwako ne Fiston Abdul Razak azannyira mu JS Kabylie eya Algeria.
 
Mu makkati, baakwesigama nnyo ku yaliko ssita wa Newcastle, Gael Bigirimana nga kati azannyira mu Hibernian eya Scotland.
 
SENEGAL NE ALGERIA - (2:00 EZ'EKIRO)
Amaaso gaakusinga kubeera ku muteebi Sadio Mane eyayambye Liverpool okuwangula ekikopo kya Champions League sizoni ewedde.
 
alt=''

 

Mane nga ye kapiteeni wa ttiimu ya Senegal, yasubiddwa omupiira ogwasoose
nga bamegga Tanzania 2-0 olw'ekkoligo lya kaadi era omutendesi Aliou Cisse akakasizza nti waakutandika ogw'enkya.
 
Senegal nga mu kiseera kino y'ekulembedde olukalu lwa Afrika mu kucanga akapiira mu nsi yonna okusinziira ku nsegeka za FIFA.
 
Etunuulidde buwanguzi bwa mulundi gwkubiri yeesogge oluzannya lwa ttiimu 16 mu kaweefube gwe baliko okweggyako ekikwa ky'obutawangula ku mpaka zino.
 
Algeria mu gwasoose yamezze Kenya (2-0) nga nabo batunuulidde buwanguzi beesogge oluzannya lwa ttiimu 16 era omutendesi Djamel Belmadi ategese okukola
enkyukakyuka ng'asuubirwa okutandisa omuwuwuttanyi Yacine Brahimi azannyira mu FC Porto.
 
Mu nsisinkano omwenda ezisembyeyo mu mpaka ez'enjawulo, Algeria ewanguddeko nnya, Senegal ssatu endala ebbiri ne ziggweera mu maliri.
 

 

KENYA NE TANZANIA (5:00 EZ'EKIRO)
Eno y'ensiike Bannayuganda wamu n'amawanga amalala agava mu CECAFA gye basinze okwesunga.
 
Ensisinkano omwenda ezisembyeyo, Kenya ewanguddeko nnya ate Tanzania bbiri endala essatu ne ziggweera mu maliri.
 
Wadde mu mupiira mubeeramu ebyekango, okusinziira ku mutindo gwa Senegal ne Algeria mu kibinja kino ekyokubiri, zombi zaakuba Kenya ne Tanzania ekitegeeza
nti mu nsisinkano ya Kenya ne Tanzania, buli emu leero gwe mukisa gw'erina okuwangulirayo omupiira mu mpaka z'Afrika omwaka guno.
 
Abatendesi bombi, Omufalansa Sebastien Migne owa Kenya n'Omunigeria Emmanuel Amunike owa Tanzania tebasuubira kukola nnyo nkyukakyuka mu ttiimu ezaazannye emipiira egyasoose wabula nga buli omu asuubizza omupiira omunyuvu ogw'okulumba okulaba ng'afuna obuwanguzi obusooka mu mpaka zino batangaaze emikisa egiva mu kibinja.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ekiragiro ky'okusengula aba...

Abattakisi bagamba nti tebajja kukkiriza kuvaawo okuggyako ng’ebyabaggya mu ppaaka bimaze okugonjoolwa okuli enguudo...

Omusumba Ssennyonga mu lukiiko lwa bannamawulire.

Ssennyonga yeeyamye okuyamb...

OMUSUMBA Jackson Ssennyonga owa Christian life church e Bwaise asabye abakazi bonna abalina abaana b’omugenzi...

Omulambo gwa Paasita Yiga g...

OMULAMBO gwa Paasita Augustine Yiga guggyiddwa mu ggwanika ly'eddwaliro ly'e Nsambya gy'abadde ajjanjabirwa ne...

Enkuba egoyezza ab'e Kyeban...

Obuzibu abatuuze bano babutadde ku bakola oluguudo lwa Northern bypass abaayiwa ettaka mu mikutu egyanditutte amazzi...

Paasita Kyazze

Paasita Kyazze naye ayogedd...

Agambye nti Omusumba Yiga abadde muyiiya nnyo, omusanyusa era ayagala ky'akola kyokka bino byonna yandibikoze...