TOP

She Cranes egenze ku kisaawe kya kapeti

By

Added 28th June 2019

SHE Cranes, ttiimu y'eggwanga ey'okubaka, etandise okutendekebwa mu kisaawe kya kapeti e Nakirebe, nga yeetegekera World Cup etandika nga July 12, mu kibuga Liverpool e Bungereza.

Rachael Nanyonga (ku ddyo), ng'agezaako okuyita ku Gonzaga Kigozi ateebe, She Cranes bwe yabadde etendekebwa ne ttiimu y'abalenzi ennonderere. Ku kkono ye Mary Nuba.

Rachael Nanyonga (ku ddyo), ng'agezaako okuyita ku Gonzaga Kigozi ateebe, She Cranes bwe yabadde etendekebwa ne ttiimu y'abalenzi ennonderere. Ku kkono ye Mary Nuba.

Bya GERALD KIKULWE
 
SHE Cranes, ttiimu y'eggwanga ey'okubaka, etandise okutendekebwa mu kisaawe kya kapeti e Nakirebe, nga yeetegekera World Cup etandika nga July 12, mu kibuga Liverpool e Bungereza.
 
Vincent Kiwanuka, omutendesi wa ttiimu eno, yagambye nti kino baali baakyagala dda, naye nga tewali ssente, wabula bagenda kweyambisa wiiki ebbiri ze basigazza okwongera okulinnyisa ffoomu y'abazannyi.
 
"Twafunye ssente ezaatusobozesezza okupangisa ekisaawe kya kapeti, eky'essomero
lya AVRS e Nakirebe. Kigenda kuyamba abazannyi okukimanyiira basobole okwanguyirwa
nga batuuse e Bungereza," Kiwanuka bwe yategeezezza.
 
She Cranes, emaze ekiseera ng'etendekebwa ku MTN Arena e Lugogo, eri mu kibinja D n'abategesi aba Bungereza, Samoa ne Scotland.
 
Esuzibwa mu wooteri ya Matter Wood e Kyaliwajjala - Namugongo, ng'esuubirwa
okusitula nga July 5.

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...