TOP

zelles ekiruyi ezze kimalira ku Kenya

Added 29th June 2019

zelles ekiruyi ezze kimalira ku Kenya

Bya Gerald Kikulwe

Leero(Lwamukaaga) mu zone 5 Basketball

Kenya - Uganda(11:00)

Uganda - Egypt(1:00)

‘GAZELLES' ttiimu  y'eggwanga eya Basketball abawala ekiruyi kya Misiri okubava wansi neebakuba ku lwokuna b'azze kukimalira ku Kenya mu nsiike eyokusatu mu mpaka z'okusunsulamu aba Zoozi 5.

Abawala baafuna ekyekango ku lwokuna bwe baakulembera obutundu bw'omuzannyo obubiri obw'asooka n'enjawulo ya bugoba 16 (40-24),Misiri yakomawo mu butundu obubiri obwasembayo n'ewangula omuzannyo n'obugoba 64-55.

Kino kyakola bubi ttiimu y'abakyala oluvannyuma lw'okuwangula ensiike eyasooka ng'ekuba Rwanda (62-53) ng'olwa leero (Lwamukaaga)June,29 baagala kuwangula Kenya mu nsiike y'ebibinja esembayo okusobola okutangaaza emikisa gy'okuyitamu.

Empaka ziyindira mu MTN Arena e Lugogo nga ze z'okusunsulamu abanakiikirira Zone 5 mu z'Afrika ‘AfroBasket' ezigenda okubeera mu kibuga Bamako ekya Mali wakati wa July 19-28.

Zeetabiddwaamu amawanga 5 okuli; Uganda, Kenya, Rwanda, Tanzania ne Misiri nga kuzino betaagako ttiimu emu okwegatta ku Senegal, mali, Nigeria, Cameroon ne Mozambique abaayitamu edda.

Flavia Oketcho kapiteeni wa ttiimu y'abawala agamba nti ensobi ze baakola Misiri okubakuba tebaagala kuziddamu era banywedde okwemalira egogga ku Kenya.

Gazelles y'asembayo okwetaba mu mpaka  zino mu 2015 e Cameroon.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dodoviko (aliko ssaako) ne banne ku mukolo ogumu.

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki...

DODOVIKO Mwanje gwe balumiriza okumenya ekkanisa bongedde okumufunza! Lt. Col. Edith Nakalema olwamaze okukwata...

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

FDC ewadde Lukwago bbendera...

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye...

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...