TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Obadde okimanyi nti butto wa pine alwanyisa infection ssaako n'okuvumula amannyo ? Soma wano mu mboozi y'omukenkufu

Obadde okimanyi nti butto wa pine alwanyisa infection ssaako n'okuvumula amannyo ? Soma wano mu mboozi y'omukenkufu

Added 3rd July 2019

Obadde okimanyi nti butto wa pine alwanyisa infection ssaako n'okuvumula amannyo ? Soma wano mu mboozi y'omukenkufu

 Omulimi wa payini ng’alaga emiti gye. Ku ddyo bwe bucupa omuli butto akamuddwa mu payini,

Omulimi wa payini ng’alaga emiti gye. Ku ddyo bwe bucupa omuli butto akamuddwa mu payini,

ABANTU bangi beevuma payini nga bagamba nti akaza ettaka. Naye ate n'abamulimye bangi okumukolamu ssente. Ekibi abamulima basinga kutunuulira mbaawo ne beerabira nti waliwo emigaso emirala nga bakamukenenulamu butto kuva mu musanda ne bakolamu ssente nga bwe balinda ezembaawo.

Butto oyo ssinga omufuna alimu emigaso gino wammanga; l Abalumwa ennyingo n'ebinywa mwesiige akuyambe okugoba obulumi.

l Ajjanjaba ekifuba, akagiiko ka ssukaali akatono kamu oteekeko butto w'amasanda ga payini onywe.

l Agoba ebiwuka mu bantu n'ebisolo, omuntu anywa amatondo 5 ate ebisolo n'ebinyonyi nga enkoko oziwa amatondo 20 mu liita 20 ez'amazzi. Wabula omukyala owoolubuto tomuwa.

l Ayamba okugoba oluwumu, luno lutera okusumbuwa abavubuka olw'obucaafu, okugabana ebintu bye bakozesa ng'engoye n'okuba n'abaserikale abanafu, nywayo obujiiko butaano n'okumwesiiga ajja kulugoba.

l Agoba ensekere n'atta n'amagi gaazo, wabula asiiyibwa enviiri mwesiiga zirekerawo okukusiiwa. Akola saampo osobola okumutabulamu.

l Asaabulula obuyinja mu nsigo n'akawago, wabula wano onywa amatondo 5 ku mazzi agabuguma.

l Ayamba abantu abatawunyiriza bulungi olw'eminyira egyakwata mu kiwanga, bw'omusiiga ku nnyindo ne munda waayo azibukula ekiwanga n'obusimu obutwala ku bwongo n'oddamu okuwunyiriza.

l Ayamba ku mabwa agatawona naddala abalwadde ba ssukaali batera okubeera n'amabwa agatawona, naye bw'omusiigako nga gakala mangu ate ayamba ne ku buzimba obutawona.

l Akola ku bawunya ebigere n'ebigere ebisiiwa ne biwona. kyokka akola ku bimmonde ebitera okuluma obumyu.

l Akola ku yinfekisoni naddala mu bakyala abatera okuzifuna olw'okugenda mu kaabuyonjo encaafu.

l Ayamba okutta obutoffaali obuleeta kookolo, omuteeka mu mubisi gw'enjuki n'onuuna obuwuka bwe bujja okulya nga bufa, olw'okubaamu ekirungo ekiziyiza kookolo obutasaasaana mu mubiri.

l Butto w'amasanda ga payini ayamba okutta obuwuka obulya amannyo ssinga omutonnyeza mu linnya eddwadde. Asangibwa ku Equatorial Mall dduuka nnamba 152 mu Kampala. Mufune ku 0702061652 / 0779519652.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.