TOP

Omutendesi wa Gomba asuddewo tawulo

Added 8th July 2019

Omutendesi wa Gomba asuddewo tawulo

 Omer Selli abadde omutendesi wa ttiimu ya Gomba asuddewo Tawulo

Omer Selli abadde omutendesi wa ttiimu ya Gomba asuddewo Tawulo

OMUTENDESI wa ttiimu y'essaza ly'e Gomba,Omer Selli asuddewo tawulo ng'entabwe eva ku bakulira ttiimu eno okuyingiriranga emirimu gye ssaako n'obutamusasula nsimbi bukya ateeka omukono ku ndagaano mu March 2019.

Mu bbaluwa, Selli gyeyaweerezza ssentebe wa ttiimu eno, Mansoor Kabugo eya nga July 3,2019, Selli yategeezezza nti bino byebimuletedde okwesamba ttiimu mu mipiira ebiri egisembyeyo okuli ogwazanyibwa ne Bugerere ssaako n'ogwa Ssingo ogwazanyiddwa ku Ssande July 7,2019 e Kabulasoke.

"Okuyingiriranga emirimu gyange ne nemwa okulonda ttiimu nze gyenjagala ate n'ebirowoozo byange ku ttiimu erondeddwa nabyo ne bitasibwamu kitiibwa.

Ekirala okunsasula ensimbi zetwakkanyako ng'ateeka omukono ku ndagaano, obukadde 3,5000,000/- saako n'ensimbi 500,000/-eza buli mwezi okuva March 12,2019," Selli bwatyo bweyanyonyodde ebimu ku bimuviriddeko okulowooza ku ky'okuva ku mulimu gw'obutendesi.

Bannagomba babadde n'essuubi ddene mu Selli era bweyayanjulwa, baagamba nti bagenda kuddamu okuddamu okutwala ku kikopo wabula ebintu bibadde tebimutambulidde bulungi naagamba nti ebizibu bino, abawagizi babadde tebabimanyi.

Selli yagambye nti okuva July 3,2019 lweyawereeza Kabugo ebbaluwa, tafunanga kuddibwamu bwatyo ku Ssande July 7,2019 kwe kusalawo okulangirira nga bwavudde ku ttiimu eno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embiranye ku kifo ky'obwap...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa Vision Group kuzudde nti okuvuganya mu bitundu bya Uganda kusinga mu Buganda, wakati...

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...

Kasasa

Kkooti egobye okusaba kw'ab...

KKOOTI Enkulu ey’ebyettaka egobye okusaba kw’abaana ba Sekabaka Muteesa mwe babadde baagalira okubakkiriza okujulira...

Pte Asiimwe (ku kkono), Pte Mugabi, 2Lt Kasmula ne 2Lt Ankunda mu kaguli ka kkooti gye baavunaaniddwa n’abaserikale ba poliisi e Makindye.

Boofiisa basimbiddwa mu kko...

BOOFIISA ba poliisi basimbiddwa mu kkooti y’amagye ne bavunaanibwa okusomola ebyama bya Gavumenti ne babigabira...