TOP

Ab'ebikonde babayiyeemu kavu

Added 11th July 2019

Ab'ebikonde babayiyeemu kavu

 Aba Boxing Federation nga bakwasibwa ceeke

Aba Boxing Federation nga bakwasibwa ceeke

Bya Fred Kisekka

Ttiimu y'eggwanga ey'ebikonde ‘The Bombers' efunye ebugumu ekibiina ky'ensi yonna ekya ‘UN Women' bwe kigiyiyeemu ensimbi emitwalo 30,000 eza ddoola muza Uganda  obukadde 110 ziyambeko mu kwetegekera emizannyo gya Africa egya All Africa Games.

Ensimbi zino zakwasiddwa pulezidenti wa UBF Moses Muhangi ku kitebe ky'ekibiina kya UN Women e Kololo ng'ono yasanyukidde enkata eyabakubiddwa.

Akulira ekibiina kya UN Women mu Uganda Maxime Houinato agambye basazeewo okudduukirira ebikonde kuba gwe gumu ku mizannyo egisinze okuweesa Uganda ekitiibwa era gusaanye obutatiriribwa.

"Emyaka gyona Uganda ebadde eyimiriddewo ku bikonde mu mizannyo, tusazeewo okuguddukirira kuba gulina ebitone bingi ebyetaaga okufibwaako" Maxime bwe yagambye.

Ttiimu y'abazannyi 25 eri mu yakuba amakanda  mukkomera e Luzira ng'emizannyo gya Africa gye yetegekera gya kubeera mu kibuga Rabat ekya Morocco wakati wa August 19 ne 31

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embeera y'amasiro nga bwegali mu kiseera kino

Omuwanika wa Buganda Waggwa...

OMUMYUKA ow’okubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda,Robert Waggwa Nsibirwa bwe yabadde asoma embalirira...

Abakozi abakolera mu Owino balaajanidde Gavumenti ku mmaali yaabwe

Abakolera mu Owino balaajan...

ABASUUBUZI abakolera mu katale ka St.Balikudembe balaze obutali bumativu olw'abeebyokwerinda okubagaana okutaasa...

Eyafumitiddwa ebiso nga bw'afaanana

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....

Nnamwandu Sarah Nassiwa ng'akungubagira bba

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....

Ronald Kyobe ng'alaga emmwanyi ze. Ebifaananyi bya Ssennabulya Baagalayina

Abalimi b'emmwanyi e Lwaben...

ABALIMI b'emmwanyi mu ggombolola y'e Lwabenge e Kalungu kwe basinzidde okusaba Gavumenti nti tekoma kubakunga wazira...