TOP

Uganda eviiriddemo awo mu rugby

Added 14th July 2019

Ttiimu z'eggwanga eza rugby, ey'abasajja n'abakazi, zaalemeddwa okuwangula ekikopo kya Elgon Cup, Kenya bwe yazikubye zombi

David Katende (ku kkono), omukungu wa NCS, ng'akwasa abazannyi ba ttiimu ya Kenya eya Rugby ekikopo

David Katende (ku kkono), omukungu wa NCS, ng'akwasa abazannyi ba ttiimu ya Kenya eya Rugby ekikopo

Elgon 2019 Cup Abasajja:

Uganda 05 - 16 Kenya

(Ogwasooka)

Kenya 13-16 Uganda

Abakazi:

Uganda 05 - 35 Kenya

(Ogwasooka)

Kenya 42-13 Uganda

TTIIMU ya Rugby ey'e Kenya ‘ Kenya Crocodiles'  eremesezza  Uganda essanyu n'omukisa okuwangula ekikopo kya  Elgon Cup eky'omukaaga, bwe yagikubye ku bubonero 16-05. Omuzannyo gwabadde ku kisaawe kya Kyaddondo e Lugogo, ku Lwomukaaga.

Omutendesi wa Rugby Cranes, Robert Seguya, abazannyi, n'abawagizi baatandise bamativu nti we baakoma mu luzannya olwasooka we bagenda okutandikira (baawangula 16-13), era be baasoose okulya empanga ne bafuna obunonero 5.Wabula buno bulinga obwabaseze, kuba  kwe baakomye.

Omuzibizi wa Rugby Cranes, Phillip Wokorach,  y'omu ku baasinze okuyiwayo Uganda bwe yalemeddwa peneti bbiri mwe bandifunidde obubonero 6.

"Abateebi baabadde ng'abakubemu emisumaali, ate nga basuula nnyo emipiira. Emipiira eg'okusimula nagyo gyabalemye olw'ekisaawe ekyabaddemu obuseerezi. Wabula tebinaggwa tujja kwesasuliza mu mpaka eziddako eza Victoria Cup",  Seguya bwe yategeezezza.

 muzannyi wa enya rene tieno ngayita ku ba ganda mu lgon up enya yawangudde 355 Omuzannyi wa Kenya Irene Otieno ng'ayita ku ba Uganda mu Elgon Cup. Kenya yawangudde 35-5

 

Bannakenya baasoosse kusitukira mu ky'abakazi ku kisaawe kye kimu, oluvannyuma  Rugby Lady Cranes,  n'esuubiza okukola obulungi e South Africa mu z'okusunsula abaanazannya World Cup ya 2021, mu New Zealand.

Zino zirimu Kenya, Madagascar ne Uganda, nga zaakuberawo wakati wa  August 9-17, mu kibuga  Johannesburg, omuwangizi agende butereevu mu World Cup.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'e Korea batandise kampey...

AB’E Korea bali mu kugaba musaayi okumala ennaku ttaano okutaasa bannaabwe abakwatibwa ekirwadde kya Corona.

Omubaka Amelia Kyambadde nga yeegasse ku batuuze okukola bulungibwansi

Abakulembeze mwongere amaan...

EKIBIINA ky'obwannakyewa kikulembeddemu abatuuze b'e Mpambire ne bakola bulungibwansi omubaka Amelia Kyambadde...

Omugenzi Maj. Gen. Eric Mukasa

Kabaka atenderezza munnamag...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II akungubagidde omugenzi Maj.Gen. Eric Mukasa gwayogeddeko ng’omu ku bavubuka abazira...

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...