TOP

Kikamulo Utd ye kyampiyoni wa Nakaseke

By

Added 14th July 2019

Abatuuze batabukidde poliisi ye Kajjansi lwa musibe gwe baabakwasizza kyokka okuddayo ng’abaserikale babategeeza nga nabo bwe batamanyi gy’abulidde!

 Omubaka wa Nakaseke, Sarah Najjuma (ku ddyo) ng’akwasa kapiteeni wa Kikamuloekikopo. Wakati ye Allan SsebunyaMagogo

Omubaka wa Nakaseke, Sarah Najjuma (ku ddyo) ng’akwasa kapiteeni wa Kikamuloekikopo. Wakati ye Allan SsebunyaMagogo

Kigambibwa nti omuvubuka amanyiddwa nga ‘Mulokole' yakkidde munne Godfrey Zizinga n'amukuba ensuuluulu ku mutwe. Bino byabaddewo ku Lwokuna.

Abatuuze b'e Kajjansi mu Zooni ya Lweza baakutte ‘Mulokole' ne bamutwala ku poliisi ate Zizinga ne bamuddusa mu ddwaaliro e Mulago kyokka yafudde tebannamutuusaayo.

Zizinga bwe yafudde, abatuuze abamu ne beeyongerayo e Mulago omulambo gusobole okukeberebwa ate abalala ne badda ku poliisi y'e Kajjansi ne bagibanja ‘Mulokole' bamwekolereko kyokka ne bakabatema nti tebamanyi gy'ali!

Ekyaddiridde be batuuze okwesala akajegere nga bayomba n'okwogera ebikankana okutuusa ssentebe w'abalombe Lino Odrajia bwe yabakkakkanyizza n'abalagira bamugoberere bagende ku ggwanika.

Zizinga abadde akolera mu kirombe ky'e Kawazzi e Lweza ate ‘Mulokole' ng'amanyi okujja mu kirombe kino okusaba emirimu egya lejjalejja.

Olutalo wakati wa Zizinga ne ‘Mulokole' lwavudde ku Zizinga okutuuka mu kirombe ng'ebintu by'akozesa omuli ennyondo n'ensuuluulu tabiraba. Bwe yayazizza abaabaddewo n'abikwata ne ‘Mulokole', kwe kulwana.

BALEETA OMULAMBO KU POLIISI

Abatuuze abaakulembeddwa Odrajia bwe baavudde ku ggwanika e Mulago, baazinze poliisi y'e Kajjansi ne bagisuulira omulambo kyokka ng'abaserikale tebabanyega.

Oluvannyuma beefukuludde ne baguggyawo ne bagutwala e Kyazanga mu Masaka gye gwaziikiddwa ku Lwomukaaga wakati mu kwogerera poliisi amafuukuule.

Omu ku baserikale ataayagadde kwatuukiribwa yategeezezza nti kituufu omusibe baamuleese naye nabo tebamanyi gy'ali!

Atwala ebyokwerinda mu kitundu kino, Rashid Ntambala yagambye nti naye okutegeera nti Zizinga afudde, yabisanze ku poliisi e Kajjansi. Yabadde azze okubaako omusibe gwe yeeyimirira.

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omu ku bakadde abasinga ob...

Omu ku bakadde ababadde basinga obukulu mu Uganda afudde!

Nantume ng'akaaba

Nantume atulise n'akaaba bw...

Omuyimbi Moureen Nantume atulise n'akaaba bw'ajjukidde engeri Katonda gye yamuggya mu bwayaaya n'amufuula sereebu...

Kangave ne Deborah nga bamema

Eyali omwogezi wa Poliisi a...

Eyali omwogezi wa poliisi mu bitundu okuli e Luweero ne Masaka, Paul Kangave ayanjuddwa mu bazadde ba mukyalawe...

Katikkiro Charles Peter Mayiga n'omuyimbi Carol Nantongo

Carol Nantongo afe essanyu ...

OMUYIMBI Carlo Nantongo kate afe essanyu Katikkiro Charles Peter Mayiga bwe yamuwaanye nti ayimba ‘ebiriyo'. ...

Nina Roz ne Daddy Andre nga bamema

Nina Roz asekeredde abamuye...

" NG'ENZE ne Andre abalala bali ku byabwe. Okukyala kuwedde kati mulinde kwanjula na mbaga," bwatyo omuyimbi Nina...