TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Abemmemba beekengedde Abekinyomo mu Bika

Abemmemba beekengedde Abekinyomo mu Bika

Added 14th July 2019

Omutendesi wa Mmambe Kakoboza alabudde abazannyi be ku Kinyomo kye bazannya mu gy'Ebika

 Disan Galiwango (ku ddyo), owa Kakoboza ng'asala'omuzibizi w'Engabi Ensamba, Charles Lubega gye buvuddeko

Disan Galiwango (ku ddyo), owa Kakoboza ng'asala'omuzibizi w'Engabi Ensamba, Charles Lubega gye buvuddeko

Mmande mu gy'Ebika;

Kakoboza - Kinyomo

Ogwazannyiddwa

Kkobe 1-0 Nsenene

OMUTENDESI w'Emmamba Kakoboza, Mohammad Kiberu, alabudde abazannyi be obutanyooma ttiimu ya Kinyomo kuba erina obusobozi obubawandula mu mpaka z'Ebika.

Bino yabyogedde yaakamala okukola amaliri 3-3, ne ttiimu ya Galaxy FC e Lungujja, mu gumu ku mupiira gwe yabadde ageresezaamu abamu ku bazannyi be n'okufuna ekifaananyi kya ttiimu gy'asuubira okutandisa ku Mmande bwe banaaba battunka n'Ekinyomo e Wankulukuku, mu luzannya olusooka olwa ttiimu 16.

"Buli muzannyi ateekeddwa okuyingira ekisaawe n'ekigendererwa ky'okufiirawo okulaba nga tufuna obuwanguzi kubanga tewali ttiimu  etuuse wano a nnafu", Kiberu bwe yategeezezza ng'omupiira gwa kaggwa.

Abeekinyomo, nga bakulembeddwaamu George William Ssenyomo, maneja, basuubizza okutuusa ku Kakoboza, ekintu kye kimu kye baakola Endiga.

 ayongo ku ddyo nomuwagizi wkkobe omulala mu ssanyu Kayongo (ku ddyo) n'omuwagizi w'Ekkobe omulala, mu ssanyu

 

Mungeri y'emu, Ekkobe ly'akubye Enseenene ggoolo 1-0, ne liwa abawagizi baayo abakulembeddwa Paul Kayongo (eyaliko maneja), essanyu lya mirundi ebbiri; okuwangulira mu mujoozi omupya ogwabadeko ekifaananyi kya Namwama, n'eryokuwangulira ku butaka bwalyo e Buwama.

Badding'ana nga July 23, e Kasana mu Luweero.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Loodi Meeya Erias Lukwago ngakyazizza dayirekita wa Kampala omuggya, Dorothy Kisaka

Loodi meeya akyazzizza dayi...

  Ababiri basoose mu kafubo mu ofiisi za Loodi Meeya okumala essaawa bbiri nga bateesa. Lukwago yamwanjulidde...

Gav't etandise okugabira Ba...

GAVUMENTI etandise okugabira Bannakampala masiki eziyamba okutangira ssenyiga omukambwe kyokka abamu ku ba LC abaazikwasiddwa...

Kazinda ng'aleeteddwa mu kkooti

Kazinda ayolekedde okuyimbu...

EYALI omubalirizi omukulu mu ofiisi ya Katikkiro wa Uganda Geoffrey Kazinda ayolekedde okuyimbulwa mu kkomera e...

Kitatta ng'ali mu kaguli ka kkooti

Abudallah Kitatta ayimbuddw...

Hajji Abudallah Kitatta eyali omuyima wa bodaboda 2010 ayimbuddwa okuva mu kkomera gy'amaze emyaka 3.

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...