TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Vipers bagitutte mu kkooti lwa kukozesa akabonero ka 'logo' nga tebasasudde yakabakolera

Vipers bagitutte mu kkooti lwa kukozesa akabonero ka 'logo' nga tebasasudde yakabakolera

Added 18th July 2019

KIRAABU ya Vipers bagitutte mu kkooti lwa kukozesa akabonero kaayo (logo) nga tebasasudde yakakola. Era eyabawawaabidde eyagala kkooti eteekewo ekiragiro ekibagaana okuddamu okukakozesa.

Issa Kainamura ng'ayita mu bannamateeka be aba KTA advocates yawawaabidde kiraabu ya Vipers mu kkooti enkulu etawulula enkayana z'ebyobusuubuzi mu Kampala ng'omusango guno guli ku fayiro nnamba CS 601/2019.

Mu mpaaba ya Kainamura agamba nti baamutuukirira mu 2015 nga bayita mu kitunzi waabwe Elvis Ssekate eyaliko mu kiseera ekyo ne bamusaba okubakolera omulimu ogwo. 

Yabakolera obubonero busatu okusobola okulondako kamu wabula nga September 26 2018 kyamwewuunyisa bwe yalaba nga batuuzizza olukungaana lw'abannamawulire nga kiraabu ya Vipers eggulawo ekisaawe kyabwe kyokka nga akabonero akamu kwobwo ke yawaayo ke bakozesezza.

Era okuva olwo ne batandika okukakozesa ku bintu eby'enjawulo ng'akabonero kaabwe akamanyiddwa nga tabawadde lukusa wadde okumusasula kino kimuleetedde okufiirwa nga singa kkooti tebateerawo kiragiro kibakungira kukakozesa Kainamura ajja kweyongera okufiira.  

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Matia Lubega eyabula ku bakadde be

Eyabula kati emyezi ebiri y...

Omwana eyabula kati emyezi ebiri nga n'okutuusa kati tannamanyikako mayitire yeeraliikirizza bazadde be nga bagamba...

Omuwala atuuyanidde mu ofii...

OMUWALA agambibwa okubba ensimbi emitwalo 290,000/= ku muvubuka yakiguddeko omuvubuka bwe yamuguddeko mu Kampala...

Ensi kuyiiya: Wuuno nnamuka...

ABAVUBUKA bangi banyooma emirimu olwo ne badda mu kwekubagiza nga bwebatalina mirimu n’obwavu obubalemesa okubaako...

Ensi ekalubye omukazi ow'em...

Nansubuga agamba ku myaka 75 asoboola okwetuusaako buli kimu.

Dr. Diana Atwine n'abakulu abalala nga balambula eddwaaliro

Dr. Atwine alagidde eddwali...

MINISITULE y'ebyobulamu ekkirizza eddwaliro ly'e Kayunga erimaze emyaka ebiri nga liddaabirizibwa litandike okujjanjaba...