TOP
  • Home
  • Ebirala
  • Emizannyo giyamba okuleeta obumu mu bantu

Emizannyo giyamba okuleeta obumu mu bantu

Added 22nd July 2019

Omulangira Davis Wasajja, agambye nti ekimu ku bintu Buganda by'eyinza okuyitamu okugatta abantu gy'emizannyo

 Raymond Emanzi owa Pirates ng'alwana okwetakkuluza ku muzannyi wa Jinja Hippos

Raymond Emanzi owa Pirates ng'alwana okwetakkuluza ku muzannyi wa Jinja Hippos

Coronations Rugby 7s

Fayinolo:

Pirates 38 - 5 Kobs

Semi

Pirates 12- 7 Hippos

Kobs 25 - 10 Impis

OBWAKABAKA bwakuteekawo enkola eraba nga buli muzannyo guzannyibwa mu Buganda, kyongere okuzza obumu mu bantu.

Omulangira David Wasajja yabyogeredde mu kuggalawo empaka za ‘Coronations Rugby 7s'  ezaategekeddwa ekibiina ekitwala rugby mu ggwanga, nga ebimu ku bikujjuko by'okukuza amatikkira ga Kabaka  ag'omulundi ogwa 26. Zaabadde ku kiraabu  ya Legends  e Lugogo, nga zaawanguddwa Pirates eyakomeredde Kobs ku bugoba 38-5.

 mulangira asajja ku kkono ne ohn ichael addu wakati nga bawuliriza pulezidenti wa  illiam lick Omulangira Wasajja (ku kkono) ne John Michael Kaddu (wakati), nga bawuliriza pulezidenti wa UOC, William Blick

 

"Ekimu ku bye tulina okuyitamu okugatta abantu ba Kabaka, kirina kubeera mizannyo.  Amasomeroa matono agazannya rugby mu Buganda, wabula tugenda kulwana okulaba nga gonna gatwala emizannyo egy'enjawulo," Wasajja bwe yagambye. 

Denis Etau ye yasinze banne okuteeba, n'aweebwa emitwalo 30, ate Jonathan Lahon n'alondebwa ng'eyasinze banne okwolesa ttalanta. Ku kikopo, Pirates yawanguliddeko ne 3,000,000/-.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kapiteeni wa Arsenal Aubameyang ne mukama we Arteta

Arsenal lwa kuwangula FA Cu...

ARSENAL yamyumyudde likodi y’okuwangula FA Cup emirundi emingi (14) bwe yavudde emabega okukuba Chelsea (2-1) e...

Aba Digi bafunye webabajjan...

EKIBIINA ekidukanya omuzannyo gwa ddigi mu ggwanga ekya Motorcycling Association of Uganda (MAU) kitongoza ekifo...

Mutebi (mu katono) ng’alaga amabwa ku kabina ke.

Abajaasi abalwanyisa envuba...

ABAVUBI babiri ku mwalo gw’e Wanyange mu Ggombolola ye Mafubira e Jinja bakigguddeko, abajaasi abalwanyisa envuba...

Dr. Tumwesigye

Dokita aleppuka na gwa kuka...

OMUSAWO Wilson Tumwesigye 32, ono ng’akola gwa kukebera bakyala ba mbuto (Radiographer) mu ddwaaliro lya Kamwokya...

Abaana abaatomeddwa mmotoka nga batwalibwa mu ddwaaliro e Kawolo. Mu katono bwe babadde bafaanana.

Makanika abadde agezesa mmo...

MAKANIKA olumaze okukanika emmotoka n’agivuga emisinde n’emulemerera okukkakkana nga yeefudde n’etomera abaana...