
Mubiru (ku kkono), ng'aliko obukodyo bw'awa omuteebi Patrick Kaddu
Omutendesi wa, Abdallah Mubiru atandise okuwa abasambi be obukodyo bw'okuteeba ggoolo, ng'engeri yokka gye bagenda okuyitamu okuwangula Somalia. Omupiira gwa ku Lwamukaaga luno nga July 27, e Djibouti, Somalia gy'egenda okukyaliza oluvannyuma lwa CAF okuguggya e Mogadishu olw'ebyekwerinda.
Mubiru okutendekwa kwa Mmande okw'emirundi ebiri yakumazeeko ng'alaga basambi kusensera mu ggoolo, era nga y'emu ku pulaani gy'agamba nti kw'azze atambulira, oluvannyuma lw'okubabangulamu kuluka omupiira okuva emabega okutuuka mu ntabwe.
"Okuteeba kye kimu ku bye nsebezzaayo kubanga kitwala obudde bungi okukissa mu bwongo era we tunaasambira Somalia nga bakuguse", Mubiru bwe yategeezezza.

Ye omumyukawe Livingstone Mbabazi agambye nti omwaka gwe yamala ng'atendeka ttiimu ya Somalia alina obukugu ku busobozi bwabwe wabula n'ategeeza nti tbalina kuginyooma.
"Nabatendekako okumala omwaka mulamba era mbamanyi. Wabula tetulina kubanyooma kubanga bamaze emyaka ebiri nga beetegekera empaka zino", Mbabazi bwe yategeezezza.