TOP

Ttiimu y'ebikonde eyongeddwaamu obukodyo

Added 24th July 2019

Ttiimu y'eggwanga eyeebikonde eyongeddwa obukodyo obunaagisobozesa okuwangula emidaali mu mizannyo gya Afrika

 Batantu (ku ddyo) ng'awa Suzan Akello obukodyo

Batantu (ku ddyo) ng'awa Suzan Akello obukodyo

Bya Fred Kisekka

TTIIMU y'eggwanga ey'ebikonde eyongedde okwekkiririzaamu bwe bagyogedde obukodyo n'enkuba empya, nga yeetegekera  emizannyo gya Afrika

The Bombers amakanda yagakuba mu kkomera e Luzira, era eyali ssita wa Uganda mu kuggunda eng'uumi, Solo Musa Batantu, y'omu ku baatwaliddwaayo okwongera okuwa abazannyi obukodyo.

Batantu, mu kiseera kino atendeka kiraabu ya Round 10 mu Dubai, yeegattiddwaako Meddie Hassan Mulandi, eyali mu mitambo gya The Bombers mu mpaka za ‘Africa Boxing Championship' e Congo Brazaville mu 2017 n'ewangula emidaali esatu; ogwa zaabu n'egya feeza ebiri.

 "Ebikonde ffenna bye byatulera era nasazeewo nkomewo eka mbeeko ettofaali ly'enteeka ku ttiimu y'eggwanga. Mmaze emyaka ebiri nga ntendekera e Dubai, era ndi mugumu nti obukodyo, okuzannyisa sipiidi n'okukasuka eng'uumi enzito bye nnyongedde mu bazannyi, bigenda kubayamba" Batantu bwe yagambye.

Shadir Musa, kapiteeni wa The Bombers yagambye nti obukodyo bwe baafunye bugenda kubayamba okukukumba emidaali mu mizannyo gya Afrika, egigenda okubeera e Morocco  mu kibuga Rabat, wakati wa August 19 ne 31.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssennyonga musajja wa buggy...

Endiga z'omugenzi Augustine Yiga katono ziffe essanyu bwe zirabye ku musajja wa Katonda Bro. Ronnie Makabai owa...

Ab'e Kawempe balaajanye ku ...

okulaajana kuno baakukoze oluvannyuma lwa Ahmed Lukwago eyeegwanyiza ekifo ky’obwa kkansala bw’omuluka guno okukulemberamu...

Wakayima atangaazizza ku mp...

"Nze Wakayima Musoke Hannington Nsereko era abo abatidde akalulu bakkakkane kuba ffirimbi yavugga dda Kati tulinze...

Ennyumba y'oku kiggya abamu ku b'Engabi gye baagala Yiga aziikibwe. Ebifaananyi bya JOHN BOSCO MULYOWA

Abengabi beeyawuddemu ku by...

ABAKADDE b’ekkanisa ya Pasita Abizzaayo Yiga eggulo baatudde mu lukiiko olw’amangu olw’enkaayana ezaabaluseewo...

Paasita Bujjingo ng'agumya Jengo, mutabani w'omusumba Yiga

Ebiri mu katambi ka Paasita...

Ku Ssande nga October 25, 2020, Ssenyonga yasinziira mu kusaba mu kkanisa ye n’alumba abasumba ab’enjawulo omwali...