TOP

Babakubye katono beegwe mu bulago

Added 24th July 2019

Obutakozesa mikisa gye bafunye mu ddakiika 90 kitabudde abazannyi ba Five Stars Academy buli omu n'alumirizza munne okuyiwayo abawagizi.

 Abazannyi ba Royal Collage nga bajaganya.

Abazannyi ba Royal Collage nga bajaganya.

Kisubi Mapeere S.S 0-1 Taggy High School

Five Stars Academy 0(2)-0 (4) Royal Collage

 

Abazannyi ba Five Stars Academy katono beegwe mu bulago nga buli omu alumirizza munne okuyiwayo ttiimu nga takozesa mukisa gwe yafunye okutwala ttiimu ku luzannya oluddako. Bano baakubiddwa Royal College ku peneti 4-2.

Omupiira guno gwabadde ku mutendera gwa ligyoni (Buganda) mu mpaka za Airtel Rising Stars ezaabatasussa myaka 13 ne 17. Aba Royal College olw'ateebye peneti y'obuwanguzi oluvannyuma lw'omupiira okugwera mu maliri 0-0, ne bawaga nga bwe bagenda okusitukira mu 1,500,000/-.

bazannyi ba oyal ollage nga bajaganyaAbazannyi ba Royal Collage nga bajaganya.

 

Ng'omupiira tegunnagyibwako kawuuwo, abazannyi ba Five Stars Academy bazze mu kisaawe nga balalise okukaabya Royal Collage nga bagikuba ggoolo eziwera kuba ebiseera ebisinga obudde babumalira mu bitabo.

Bino olwagudde matu g'abazannyi ba Royal ne beekumakuma okuzannya omupiira gwa bbasi era okukakkana omupiira gwagenze okukomekkerezebwa ng'abazibizi ba Royal balemesa abateebi ba Five Stars.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dr. Keefa Kamya ng'asabira abantu

'Bakitaffe mutusabire essaa...

BAKITAFFE tusabayo essaala ennafuya bonna abatwesimbyeko baleme kutuggya mugaati mu kamwa nga batuwangudde!!!!Abakulembeze...

Lubega nga bamukunguzza ekyalo n'enkoko enzibe

Omubbi w'enko bamukunguzza ...

OMUSAJJA aludde ng'abba enkoko z'abatuuze agudde ku kyokya, ku luno bakutte ne bamukuba emiggo. Kitegeerekese...

Nnaalongo n'emigogo gy'abalongo be ebiri gy'alese

Nnaalongo w'emigogo gy'abal...

OMUKAZI w’emigogo gy’abalongo ebiri asirituse n’agwa mu kinaabiro n’afa n’aleeka aba famire n’abatuuze mu kiyongobero...

Abavunaanibwa nga bali mu kkooti

Abagambibwa okubba ettaka l...

ABAGAMBIBWA okukozesa olukujjukujju ne bafuna ebyapa ku ttaka ly'omukulembeze w'eggwanga basimbiddwa mu kkooti...

Bbebi gwe baasudde mu ddwaaliro

Omusajja acankalanyizza edd...

OMUSAJJA acankalanyizza eddwaliro bw'atutte bbebi n'amusuulira abasawo nga abalumiriza obutakozesa bukugu ekyaviirako...