TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Abagwiira 30 bakakasizza okwetaba mu misinde gy'eggwanga e Namboole

Abagwiira 30 bakakasizza okwetaba mu misinde gy'eggwanga e Namboole

Added 25th July 2019

Abagwiira 30 bakakasizza okwetaba mu misinde gy'eggwanga e Namboole

Bya Amanda Namayo

ABADDUSI 30 okuva mu mawanga asatu ga kakasizza okwetaba mu mpaka z'emisinde ez'eggwanga eziggalawo omwaka ezinabera mu kisaawe e Namboole ku lw'okutaano ne olw'omukaaga wiiki eno.

Amawanga agasindise abaddusi mulimu Kenya, Burundi ne South Sudan.

Empaka zino ezimanyiddwa nga National Championships zitegekeddwa ekibiina ky'eggwanga ekifuzi, Uganda Athletics Federation (UAF) era nga ze zikomenkkereza  okuyamba abaddusi ba Uganda  n'abagwira okutuukiriza ebipimo (standards) ebyetaagisa okwetaba mu mpaka za All Africa Games mu mwezi gwa August  e Morocco wamu ne z'ensi yonn ezinaabera e Qatar mu Sebutemba w'omwaka guno.

Pulezidenti wa  UAF, Domenic Otucet yategeezezza olukung'aana lw'abamawulire olutuziddwa mu Kampala  nti okujja kw'abaddusi okuva mu mawanga ag'ebweru, kigenda kwongera ku mutindo gw'empaka zino ezakakasibwa ekibiina ky'ensi yonna ekya  International Association of Athletics Federations (IAAF) okubeera ku mutindo gw'ensi yonna era nga zakuyamba okisengeka omutindo gw'abaddusi bonna mu nsi.

Yagambye nti olw'omutindo ogusuubirwa mu mpaka zino ez'ennaku ebbiri, asuubidde owuwendo gwa bana Yuganda okweyongera mwaabo abanatukiriza ebipimo mu z'Afirika wamu ne z'ensi yonna.

Abaduusi bana Yuganda  abawera 42 be bakatukirizza ebipimo ebyatagisa okwetaaba mu mpaka z'Afirika ate abalala 28 mu z'ensi yonna (World Championships).

Abatuzizza ebipimo mu z'Afirika wamanga

Abasajja

1. Adome Pius - 100m

2. Orogot Tarsis 200m

3. Opiny Leonard 400m

4. Adoli Aaron 400m

5. Musagala Ronald 1500m

6. Joshua Cheptegei 5000m/10000m

7. Stephen Kissa - 5,000m

8. Oscar Chelimo 5000m

9. Ayeko Joel 10,000m

10. Ayeko Thomas 10,000m

11. Mande Bushendich 10,000m

12. Kibet Samuel 10,000m

13. Chemutai Albert 3000mSC

14. Sikowo Albert 3000mSC

15, Kiplangat Benjamin 3000mSC

16. Timothy Toroitich 10,000m

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abapoliisi nga balawuna mu Kampala.

Okunoonyereza kulaze ebibul...

OKUYITA mu kunoonyereza kwa Vision Group etwala ne Bukedde, Bannayuganda balaze ebyokwerinda n’obutebenkevu bwe...

Nakibinge

Kasikonda amusse ayigga kalulu

KASIKONDA akutte eyeesimbyewo ng'anoonya akalulu n'aziyira. Amulumye okumala ennaku nnya ng'assiza ku byuma oluvannyuma...

Abasawo nga bassa omwana mu ‘incubator’

Bafunye ebyuma ebibikka abaana

OMUWENDO gw'abaana abafa nga tebannatuusa myezi 9 (kwe balina okuzaalibwa) mu disitulikiti y'e Kamuli, Buyende...

Katuukiro (owookubiri ku ddyo), Polof Kisambira (akutte akazindaalo) ne baminisita ba Busoga.

Kyabazinga akungubagidde Ntalo

KYABAZINGA wa Busoga William Wilberforce Nadiope IV akungubagidde Vincent Ntalo Kakete taata wa Katuukiro we, Dr....

Nassimu Kyazike.

'Muntaase munponye okusula ...

OMUSERIKALE wa UPDF abafere gwe baalimba okuguza enju ne bamwefuulira ne bamukuba kalifoomu n'okumubbako obukadde...