TOP

Everton yeesimbye mu Zaha

Added 25th July 2019

Everton egamba nti nneetegefu okugula Zaha obukadde bwa pawundi 55.

 Zaha

Zaha

Crystal Palace olwagobye Arsenal obutaddamu kulamuuliriza muteebi waayo, Wilfried Zaha, Everton ne yeesowolayo okumugula ensimbi ze baagala.

Arsenal erudde ng'eyagala okugula omuzannyi ono wabula ensimbi obukadde bwa pawundi 40 ze baasooka okutwala ne bazibagobya nga kati baabadde bongeddeko, naye era Crystal Palace n'etegeeza nti ntono.

Abakungu ba Crystal Palace baakangudde ku ddoboozi ne bategeeza nti bakooye Arsenal okudondola omuzannyi waabwe, nga bw'eba terina nsimbi zisukka mu bukadde bwa pawundi 80, teddamu kubatawaanya.

Wano Everton we yeesowoleddeyo, n'ekuba obukadde bwa pawundi 55 ku mmeeza egule omusambi ono.

Bagamba nti basazeewo bagule Zaha ku nsimbi ezimenya likodi y'omuzannyi akyasinze okugulwa ensimbi ennyingi mu kiraabu eno. Kyokka tekinnamanyika oba Crystal Palace eneezikirizza naddala nga baagala ttiimu eweza obukadde bwa pawundi 80.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bobi Wine agudde mu lukwe l...

Asimbudde Fort Portal kumakya olwaleero n’agenda e Bundibugyo kyokka tebamuganyizza kutuuka mu kibuga wakati

Walukagga ne muwala we e Maya.

Omuyimbi Walukagga awonye o...

Omuyimbi Mathias Walukagga alula. Ku Mmande, Walukagga yasiibye ku kitebe kya poliisi e Bukoto ekya Crime Intelligence...

Fr. Mugisha

Faaza w'e Masaka ayongedde ...

FAAZA Richard Mugisha eyagugumbula abanene mu Gavumenti nga bw'awaana Bobi Wine azzeemu okuta akaka n'alabula...

Omubaka Allan Ssewanyana ng'awayaamu ne bannamateeka be.

Omubaka Ssewanyana ayimbuddwa

OMULAMUZI wa kkooti y'e Makindye Jude Okumu ayimbudde omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana n'abawagizi be...

Omugenzi Takia Namijumbi.

Eyali RDC w'e Mityana afudde

HAJATI Takia Namijumbi eyaliko omubaka wa Pulezidenti (RDC) e Mityana n'e Mpigi afudde enkya ya leero. Waafiiridde...