TOP

URA egobye 9

Added 26th July 2019

URA egobye 9

OMUTENDESI wa URA FC, Sam Ssimbwa akutte olweyo n'ayera abazannyi 9 mu kaweefube w'okuzza ttiimu eno ku mutindo. URA, eyamalidde mu kyokusatu sizoni ewedde, eyagala kuwangula kikopo kya sizoni eno era yakansizza abazannyi 11 okugiyamba mu kaweefube ono.

Kigambibwa nti Vitalis Tabu, Charles Ssempa, Matthew Tayo, Ronald Kigongo, Salim Wakiya, Allan Munaaba ne Peter Lwasa tebali ku lukalala lw'abazannyi abasigala, sso nga Robert Omunuk, Ronald Musana ne Derrick Ocen nabo bali mu lusuubo.

Mu bifo byabwe mwazzeemu Ivan Ntege (eyaliko mu KCCA), John Ssemazzi (yali mu Vipers ne Express), Samuel Mwaka, Ivan Sserubiri, Mikidadi Ssenyonga, Ashraf Mandera (abadde kapiteeni wa Villa), David Bagoole (Busoga United), Brian Majwega, Anwaru Ntege, Ibrahim Dada ne Hassan Kalega (Police).

Omwogezi wa URA, Patrick Ochieng yategeezezza nti URA erina enkola y'okuwa abazannyi baayo abalina obuyigirize emirimu, era ne Munaaba bagezaako okumufunira omulimu.

Ochieng yagambye nti olukalala lw'abazannyi be basazeeko ne be basigaza tebannatuuka kulufulumya kuba akatale k'okukyusa abazannyi kakyaliko. "Mu kaseera kano sirina kye nnyinza kwogera ku bazannyi bagenda naye Ssempa, Tabu, Munaaba ne Tayo bo tebaliiwo," bwe yategeezezza.

BAAWUKANYE KU KYA MUGABI

Agava mu nkambi ya URA galaga nti Ssimbwa yabadde ayagala kuwa Jonathan Mugabi ‘Dante' ndagaano kyokka bakama be ne bamulemesa nga bagamba nti lwe yasemba okubeera mu ttiimu talina kye yagyongerako.

Kyategeerekese nti Ssimbwa amwetaaga era y'omu ku babadde azannyisa egy'okwegezaamu akakase bakama be nti wa njawulo ku gwe bamanyi. Ivan Kakembo, eyali akulira emirimu mu Villa mu biseera Mugabi we yagizannyira, nga kati ali mu URA mu kifo kye kimu, yategeezezza nti tebayinza kuyingirira mutendesi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sosimu Twesiga

Abalima ebikozesebwa mu kus...

ABALIMA ebikozesebwa mu kusogola omwenge balaajanidde gavumenti ne bagisaba okuddiriza ku mateeka g'omuggalo ku...

Rtd. Sgt. Kyazike

Owa UPDF gwe baafera asobeddwa

EYALI omuserikale w'eggye lya UPDF abafere baamulimba okumuguza enju oluvannyuma ne bamwefuulira ne bamukuba kalifoomu...

Museveni

Obuwumbi 11 ez'abasomesa mmye

ABASOMESA balojja ennaku gye bayitamu oluvannyuma lwa ssente pulezdienti ze yawa SACCO yaabwe bwe zabbibwa ne bamusaba...

Aba bodaboda ku siteegi y’e Makerere nga bajjuza obukonge bwa Gabula Ssekukkulu, Ku ddyo ye Donozio Ssempeebwa ssentebe waabwe.

Bukedde bw'agabula tewali a...

ABAVUZI ba bodaboda nabo beegasse ku bantu abalala okukunga bannaabwe okwetaba mu kujjuza akakonge ka Gabula Ssekukkulu...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka ku mukolo gw'okukuyega abakulembeze mu Mbale.

Ab'e Mbale basabye Museveni...

MUSEVENI bwe yabadde mu Bugisu baamubuulidde ebintu ebikulu bye baagala akole olwo basobole okumuyiira obululu...