TOP

Bale agenze

Added 27th July 2019

Kiraabu y'e China erangirira essaawa yonna nga bw'eguze Bale

Garteh Bale

Garteh Bale

WIIKI eno egenze okuggwaako nga Gareth Bale y'ali ku bawagizi b'omupiira abatali bamu okwetooloola ensi yonna. Bale, 30, abadde takyakwatagana n'omutendesi Zinedine Zidane ng'era biyiting'ana nti essaawa yonna ava mu Real Madrid.


Bale yeegatta ku Real mu 2013 ku nsimbi ezaamenya likodi y'omuzannyi akyasinze okugulwa obuwanana ebiseera ebyo (obukadde bwa pawundi 85.3) kyokka abadde takyali muganzi eri abawagizi ba Real abamu n'omutendesi Zidane.

Ensonda ezimu zibadde zitegeeza nti yandidda mu Spurs gye yava kyokka ng'endala zigamba nti ManU ne Arsenal zandimutwala. Wabula kati ekiriwo, kye ky'okuba nga waliwo kiraabu y'e China, emalirizza emisoso gyonna egimugula era essaawa yonna erangirira nga bw'emututte.


Eno ye Jiangsu Suning ey'omu kibuga Nanjing ekirimu abantu obukadde obusoba mu mukaaga. Jiangsu Suning, ezannyira mu liigi y'e China ey'oku ntikko, esuubizza okuwa Bale akakadde ka pawundi kalamba buli wiiki ng'omusaala era essaawa yonna okuva kati, kigambibwa nti yaakulangirira nga bw'emuguze.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...