TOP

Cranes etuukidde mu nkambi

Added 28th July 2019

Cranes ekomyewo okuva e Djibouti gye yawangulidde oluzannya olusooka mu z'okusunsulamu abalizanya CHAN omwaka ogujja

 abazannyi ba Cranes abaatandise ogwa Somalia. Okuva ku kkono; Timothy Awanyi, Charles Lukwago, Tadeo Lwanga, Allan Kymbadde, Allan Okello, Patrick Kaddu, Paul Willa, John Revita, Allan Kayiwa, Muzamir Mutyaba ne Mustafa Kizza.

abazannyi ba Cranes abaatandise ogwa Somalia. Okuva ku kkono; Timothy Awanyi, Charles Lukwago, Tadeo Lwanga, Allan Kymbadde, Allan Okello, Patrick Kaddu, Paul Willa, John Revita, Allan Kayiwa, Muzamir Mutyaba ne Mustafa Kizza.

OMUTENDESI wa Cranes Abdallah Mubiru, asabye abazannyi be obutacamuukirira na buwanguzi bwe bafunye ku Somalia kuba bakyalina omulimu munene okutuusa nga bayiseemu.

Ku Lwomukaaga Cranes yakubye Somalia ggoolo 3-1, mu gw'oluzannya olusooka  mu z'okusunsulamu abalizannya eza CHAN omwaka ogujja. Omupiira gwabadde Djibouti, nga badding'ana ku Lwamukaaga luno (August 3) , e Lugogo

"Omupiira tegubadde mwangu kubanga tekyali ttiimu nafu, naye ekirungi tuwangudde era nneebaza abazannyi bange olw'obuvumu n'obumalirivu bwe bayolesezza ," Mubiru bwe yategeezezza oluvannyuma.

 mutendesi wa ranes bdalla ubiru Omutendesi wa Cranes, Abdallah  Mubiru

 

Omuwanguzi w'enzannya zombi waakukwata omuwanguzi wakati wa Burundi ne South Sudan ku luzannya oluddako era olusembayo mu z'okusunsulamu.

Patrick Kaddu, Mustafa Kizza ne Tadeo Lwanga be baateebedde Cranes.

Ttiimu yakomyewo mu kiro ekikeeseza ku Ssande n'egenderawo mu nkambi ku wooteri ya Sky e Naalya okwetegekera ogw'okuddingana.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...