TOP
  • Home
  • Ebirala
  • Emikisa gya Uganda okuwangula rugby gisanyalade

Emikisa gya Uganda okuwangula rugby gisanyalade

Added 28th July 2019

Ttiimu y'eggwanga eya rugby yakubiddwa Zimbabwe, n'esannyalaza omukisa gw'okuwangula Victoria Cup

 Pius Ogema owa Uganda ng'awaguza ekisenge kya Zimbabwe

Pius Ogema owa Uganda ng'awaguza ekisenge kya Zimbabwe

Mu Victoria Cup

Uganda 26-31 Zimbabwe

Emikisa gya Uganda okusemberera ekikopo kya Victoria Cup ekyetabwamu amawanga ana (4) mu Rugby gisannyaladde, Zimbabwe bwe yagikubidde ku butaka ku bugoba 31-26.

Wadde abawagizi beeyiye mu bungi ku Legends Grounds e Lugogo ku Lwomukaaga okuwagira Rugby Cranes, Zimbabwe yalaze amaanyi bwe yabasirisizza ku butaka.

Abazannyi ba Rugby Cranes baaluddewo okusumulukula ebinywa, Zimbabwe n'ebateeba obugoba 19-00 mu ddakiika 15 ezasoose, olwo ne bava emabega nga bayitira mu kusimula peneti ssatu ezaanywedde mu ggoolo empanvu ne gukyuka nga guli 12-19.

Mu kyokubiri baakomyewo n'oubkodyo obw'enjawulo ne ne bayunga 19-19, wabula  abagenyi ne baddamu okukulembera, eddakiika 80 ne ziggwako nga Zimbabwe ewangudde.

Zimbabwe y'ekulembedde empaka zino n'obubonero mukaaga oluvannyuma lw'okumegga Zambia ne Uganda. Kenya eri mu kyakubiri ate Uganda mu kyakusatu wadde nga zombi zirina obunobero busatu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

   Jane Nnabukeera eyasudde bbebi mu kabuyonjo

Wuuno maama eyasudde bbebi ...

Poliisi egamba nti Nnabukeera ng'amaze okusuula omnwana we mu kaabuyonjo yaddayo n'abikira abatuuze nga bwe yamufiiriddeko...

Mutumba eyakumye ku nnyumba ye omuliro ne mufiiramu bbebi we Nambooze

Akumye ku famire ye omuliro...

Ronald Mutumba okuva mu mbeera kiddiridde okukubira nga mukyala we Annet Mirembe amasimu nga tagakwata ate ng'olumu...

Abakulembeze mu Kawempe ben...

ABAKULEMBEZE ba LC mu Kawempe balaze obwennyamivu eri balandiroodi abasusse okugobaganya abapangisa nga babanja...

"Abatakisi bafunye obukodyo...

POLIISI erabudde nti egenda kukola ekikwekweeto ku batakisi abasiize endabirwamu z’ebidduka byaber langi nga bagenderera...

Gav't ekkirizza abagwiira 1...

UGANDA ekkirizza abagwiira 165 abaali basiibirwa muno ng’eggadde ensalo olw’obulwadde bwa COVID 19 okudda ewaabwe....