TOP
  • Home
  • Rally
  • Munnakenya alabudde Bannayuganda

Munnakenya alabudde Bannayuganda

Added 29th July 2019

Manvir Baryan aweze okuwangula empaka za Pearl of Africa Rally omulundi ogwokusatu ogw'omuddiring'anwa ayingire ebyafaayo ng'asoose okukikola.

 Baryan (ku ddyo) ne Drew amusomera maapu lwe baawangula empaka za Pearl mu 2017.

Baryan (ku ddyo) ne Drew amusomera maapu lwe baawangula empaka za Pearl mu 2017.

Munnakenya Manvir Baryan aweze okuddamu okuliisa Bannayuganda enfuufu bwe banaaba basisinkanye mu mpaka za Pearl of Africa Uganda Rally wiikendi eno.

Baryan y'omu ku bu bagwira ababiri abagenda okwetaba mu mpaka zino ezigenda okubeera ez'ennaku ebbiri okuva ku Lwokutaano okutuuka ku Lwomukaaga ku buwanvu bwa kiromita 214.

Ng'ayita ku mukutu gwe ogwa facebook, Baryan yagambye nti, "Omwaka oguwedde twawangula empaka za ‘Pearl', n'omwaka guno tuli beetegefu okuzisitukiramu. Twagala kuwangula ngule ya Afrika mulungi ogwokusatu ogw'omuddiring'anwa era tuli beetegefu okulwana na buli omu."

 anvir ngali mu koda Manvir ng'ali mu Skoda.

 

Baryan, avuga emmotoka ekika kya Skoda Fabia R5 ng'omwaka oguwedde yawangula oluvannyuma lw'okuvugira 2:26:03.5 ng'ayambibwako Omungereza Sturrock Drew ng'omusomi wa maapu.

Abavuzi 50, be baakakasiddwa okwetaba mu mpaka zino eziri ku kalenda ya Uganda (NRC) n'eya Afrika (ARC).

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Aba NRM e Wakiso baagala Mu...

ABA NRM mu Wakiso basabye Pulezidenti Museveni alung’amye ababaka nga balonda Sipiika wa Palamenti. Baagambye nti...

Abazinyi nga basanyusa abantu.

Kibadde kijobi nga Fr. Kyak...

EMBUUTU zibuutikidde ekifo ekisanyukirwamu ekya John Bosco Ssologgumba e Lukaya mu Kalungu. Zino zipangisiddwa...

Bannyabo

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde ...

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde batugobya abaami baffe?

Akeezimbira

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto en...

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto entuufu gy'osaanidde okuyiwa ku kizimbe.

Bannyabo; Nakazinga ng'annyonnyola

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe b...

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe bakugaana omwami weeyisa otya?