TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Ssita wa Liverpool awabudde muzannyi munne ku by'okugenda mu Arsenal

Ssita wa Liverpool awabudde muzannyi munne ku by'okugenda mu Arsenal

Added 29th July 2019

Arsenal eyigga musika wa Nacho Monreal mu nnamba ssatu.

OMUZIBIZI wa Liverpool, Andrew Robertson awadde omuzibizi wa Celtic, Kieran Tierney amagezi asalewo mu butuufu bw'aba waakukyusa ttiimu.

Tierney amaze akaseera nga ttiimu okuli Arsenal ne Napoli nga zimutokota era nga zaagala kumukansa.

Robertson agamba nti Tierney muzannyi mulungi era asobola okuzannyira ttiimu yonna ennene.

"Tierney alina ekitone kyokka mmusuubira okusalawo obulungi afune ttiimu ennungi," Robertson bw'agamba ku muzannyi ono bwe bazannya ku ttiimu y'eggwanga eya Scotland.

Arsenal egambibwa okuba nti nneetegefu okusasula obukadde bwa pawundi 25, Celtic bw'esaba.

Napoli yabadde eyagala kukansa omuzannyi ono kyokka omutendesi waayo Carlo Ancelotti n'abisambajja ng'agamba nti alina abazannyi abalungi.

Omutendesi wa Arsenal, Unai Emery agamba nti alina okufuna omusika wa Nacho Monreal mu nnamba ssatu ng'akatale k'abazannyi kano tekannaggalawo nga August 8.

Arsenal eggulawo ne Newcastle ku bugenyi nga tennazzaako Burnley awaka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bamukutte mu bubbi ne yeeka...

"Nnaliko omubbi ne mbuvaamu nga mu kiseera kino sirina mulimu wabula maama ampa buli kyetaago siraba lwaki nziba,...

Poliisi ekutte Sipapa

Poliisi ekutte Sipapa

Patrick Onyango omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano bwe yatuukiriddwa ku ssimu yakakasizza okukwatibwa...

Abaserikale nga bakutte Kirumira.  Mu katono ku kkono ye Namulindwa n'omwana we gw'agamba nti Kirumira yamukubisizza waya z'amasannyalaze.

Abatuuze gwe balumiriza oku...

Kirumira yategeezezza nti abantu abakubira nsonga ng'omwana yamukubidde kutwala firimu ey'obuseegu ewuwe n'ekigendererwa...

Omugagga Katumwa

Omugagga Katumwa ayimbuddwa...

OMUGAGGA David Katumwa ayimbuddwa n’ayogera b’agamba nti bebali emabega w’okumusibisa. Katumwa okuyimbulwa baamuggye...