TOP
  • Home
  • Rally
  • Ssebuguzi ne Ssenyange batunuulidde za 'Pearl'.

Ssebuguzi ne Ssenyange batunuulidde za 'Pearl'.

Added 30th July 2019

Munnayuganda amalirira mu kifo eky'okumpi ekisooka mu mapaka za 'Shell V-Power Pearl of Afrika Uganda Rally',afuna obubonero 140 singa emmotoka ye ebeera etukiridde n'amateeka agali wansi FIA.

 Ssebuguzi ne Ssenyange nga bali mu mpaka za Safari Rally omwezi guno.

Ssebuguzi ne Ssenyange nga bali mu mpaka za Safari Rally omwezi guno.

Ronald Ssebuguzi ne Leon Ssenyange bawera kufuna bubonero mu mpaka za ‘Shell V-Power Pearl of Africa Uganda Rally' bagaziye ku  njawulo y'obubonero eriwo wakati waabwe n'ababaddiridde ku ngule y'eggwanga (NRC).

Ssebuguzi y'akulembedde NRC n'obubonero 240 ng'asinga Hassan Alwi ali mu kyokubiri n'obubonero 60. Singa Ssebuguzi awangula empaka za ‘Pearl' ezitandika ku Lwokutaano, ajja kuba atangaazizza emikisa gye egiwangula engule y'eggwanga omulundi ogwokuna.

"Emirundi ebiri, engule eyookuna ezze etuyita mu ngalo. Nzikiriza nti, ku luno omwaka gwaffe era tugenda kulwana tuwangule engule eyookuna. Obuwanguzi mu za ‘Pearl' butuyamba era tujja kubukolerera," Ssenyange, asomera Ssebuguzi maapu bwe yagambye.

 ebuguzi ku kkono ne senyange amusomera maapu Sebuguzi (ku kkono) ne Ssenyange amusomera maapu.

 

Wadde ng'ekigendererwa ekisinga kya kukung'aanya bubonero obuwerako mu mpaka zino, Ssebuguzi era alwana kuddamu kumegga Bannayuganda nga bwe gwali omwaka oguwedde.

"Buli muvuzi ayagala kuwangula empaka nga zino. Okumalira mu kyokubiri emabega wa Munnakenya (Manvir Baryan) omwaka oguwedde kyatusanyusa era twagala kukola tukisingeko omwaka guno. Ekirungi amakubo tegaawukanye nnyo ku ge twakozesa omwaka oguwedde."

Bano bajja mu mpaka zino nga  baakayiikamu kavvu wa bukadde 65 okuva mu kkampuni ya Vivo Energy Uganda. Empaka za ‘Pearl' zaakutandikira Busiika ku Lwokutaano abavuzi 50 gye bagenda okuvuganyiza ku lugendo lw'obuwanvu bwa kiromita 4.36, enkeera bagende e Kayunga gye bagenda okuvuganyiza mu nkontana (sections) 4 eziriko obuwanvu bwa kiromita 210.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...