TOP

Cranes ewuttudde Somalia mu za CHAN

Added 4th August 2019

Cranes ewuttudde Somalia mu za CHAN

 Kaddu Paul ng'attunka n'omusambi wa Somalia

Kaddu Paul ng'attunka n'omusambi wa Somalia

Cranes (CHAN) 4-1 Somalia (CHAN)

Oluzannya olwasooka:

Somalia (CHAN)  1 - 3 Cranes (CHAN)

Cranes ya CHAN (ey'abasambi abasambira awaka wokka) ekubye Somalia ggoolo 4-1 abawagizi ne bawaga mu kisaawe kya Star Times e Lugogo.

Cranes ewangudde Somalia omugatte ggoolo 7-2 mu nzannya zombi.

Abadde Patrick Kaddu eyateebye ggoolo ssatu (peneti bbiri n'eyomutwe emu) okweyongedde eya Allan Kyambadde olwo Cranes n'emeggwa Somalia mu mupiira ogwokusinsulamu abanaasamba ez'akamalirizo eza AFCON eza CHAN omwaka ogujja e Cameroon.

Kati Kaddu alina ggoolo 4 mu mpaka zino oluvannyuma lw'okuteeba emu mu luzannya olwasooka e Djibouti nga June 27.

Kati Uganda erinze anaayitawo wakati wa Burundi ne South Sudan nga basamba leero (Sunday) era e Lugogo ku kisaawe kya Star Times Stadium.

Omutendesi Abdallah Mubiru agambye nti abasambi bagoberedde by'abadde abatendeka wadde nga bakyabulamu.

"Wadde ebimu tebabituukirizza, omupiira baadde bagugaba n'okugwesigaliza. Ebitendekebwa abasambi si byangu kukwata mulundi gumu era bajja kulinnisa omutindo", Mubiru bwe yategeezezza.

Wabula owa Somalia, Bashiru Heyford enzaalwa ya Ghana yeevumye ntalo mu Somalia ze yagambye nti amasasi agavuga buli kiseera tegasobozesa nkulakulana ya mupiira ntuufu n'agamba nti "Abantu abo mu basabire".

Bbo abawagizi ba Somalia beeyiye mu bungi e Lugogo okuwagira ttiimu yaabwe nga ne bwe bagiteeba basigala bawaga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Matia Lubega eyabula ku bakadde be

Eyabula kati emyezi ebiri y...

Omwana eyabula kati emyezi ebiri nga n'okutuusa kati tannamanyikako mayitire yeeraliikirizza bazadde be nga bagamba...

Omuwala atuuyanidde mu ofii...

OMUWALA agambibwa okubba ensimbi emitwalo 290,000/= ku muvubuka yakiguddeko omuvubuka bwe yamuguddeko mu Kampala...

Ensi kuyiiya: Wuuno nnamuka...

ABAVUBUKA bangi banyooma emirimu olwo ne badda mu kwekubagiza nga bwebatalina mirimu n’obwavu obubalemesa okubaako...

Ensi ekalubye omukazi ow'em...

Nansubuga agamba ku myaka 75 asoboola okwetuusaako buli kimu.

Dr. Diana Atwine n'abakulu abalala nga balambula eddwaaliro

Dr. Atwine alagidde eddwali...

MINISITULE y'ebyobulamu ekkirizza eddwaliro ly'e Kayunga erimaze emyaka ebiri nga liddaabirizibwa litandike okujjanjaba...