TOP

Eya ddigi eyungudde 37

Added 5th August 2019

Maxime van Pee waakuddamu okuduumira ttiimu ya ddigi ng'enoonya obuwanguzi mu mpaka za Afrika.

 Abamu ku bavuzi ba ddigi abali ku ttiimu.

Abamu ku bavuzi ba ddigi abali ku ttiimu.

Ttiimu ya Uganda eya ddigi esunsudde bakafulu mu kubonga ddigi okuttunka mu mpaka za FIM Africa Motorcross Championship ezigenda okubeera e Zimbabwe omwezi guno.

Abavuzi 37 bakakasiddwa dda nga bwe bagenda okwetaba mu mpaka zino okulaba ng'eggwanga livaayo n'obuwanguzi omwaka guno.

Abamu ku bavuzi kuliko; Fortune Sentamu, Sharifa Kateete, Ester Mwangala, Barak Orland, Stav Orland, Alon Orland, Kreidah Nsubuga, Emmanuel Lubega, Darel Muhindo, Jonathan Katende, Miguel Katende, Liam Ntale, Malcome Lubega, Ali Omar Yasser, Waleed Omar, Kylan Wekesa, Akaki Milton Obote, Akena Milton Obote, Wazir Omar n'abalala.

 saf atan yomu ku bali ku ttiimu Asaf Natan y'omu ku bali ku ttiimu.

 

Omwaka oguwedde Uganda yakwata kyakusatu nga ku mulundi guno kapiteeni wa ttiimu ya ddigi Maxime Van Pee, akakasizza nga bwe bagenda okuwangula engule eno.

" Twetegese ekimala nga era buli muvuzi ali mu mbeera nnungi emusobozesa okuvuga era eggwanga tugenda kulikiikirira bulungi mu mpaka zino," Van Pee bwe yategeezezza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abakozi abakolera mu Owino balaajanidde Gavumenti ku mmaali yaabwe

Abakolera mu Owino balaajan...

ABASUUBUZI abakolera mu katale ka St.Balikudembe balaze obutali bumativu olw'abeebyokwerinda okubagaana okutaasa...

Eyafumitiddwa ebiso nga bw'afaanana

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....

Nnamwandu Sarah Nassiwa ng'akungubagira bba

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....

Ronald Kyobe ng'alaga emmwanyi ze. Ebifaananyi bya Ssennabulya Baagalayina

Abalimi b'emmwanyi e Lwaben...

ABALIMI b'emmwanyi mu ggombolola y'e Lwabenge e Kalungu kwe basinzidde okusaba Gavumenti nti tekoma kubakunga wazira...

Aba bboodabbooda mu kibuga ...

ABAVUZI ba bboodabbooda mu kibuga Masaka ekyakasajjakula okufuuka City balabika amatu baagateekamu ppamba