TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Embogo ne n'Emmamba zirwanira semi ya Bika

Embogo ne n'Emmamba zirwanira semi ya Bika

Added 6th August 2019

Ttimu y'Embogo n'Emmamba zambalagana nga buli emu erwanira kuyitawo ku semi z'empaka z'Emipiira gy'Abaganda

Robert Kiyegga (ku kkono) ng'akwasa kapiteeni wa ttiimu ya Namakaka Faruk Musisi, ensimbi z’okwetegekera omupiira gw’Embongo

Robert Kiyegga (ku kkono) ng'akwasa kapiteeni wa ttiimu ya Namakaka Faruk Musisi, ensimbi z’okwetegekera omupiira gw’Embongo

 

Lwakubiri mu Bika e Wankulukuku

Embogo - Namakaka, 10:00 akawungeezi

BAZUKKULU ba Kayiira Abembogo bazzeemu okusisinkana aba Gabunga (Mmamba Namakaka), mu lutalo lw'okulwanira semi  z'empaka z'Ebika by'Abaganda.

Mu luzannya olwasooka, ttimu zombi zaakola maliri (1-1), mu mupiira ogwateeka abawagizi ku bunkenke olw'ennumba ez'okumukumu buli ludda lwe zaali zikola.

"Ng'oggyeeko Engabo, twagala okwesasuza Emmamba olw'okutujoogeranga mu maaso ga Kabaka ku fayinolo z'emirundi ebiri gye tusisinkanye mu mpaka zino," Ronald Kamya ,omu ku bawagizi b'Embogo bwe yagambye.

Ayitawo waakuzannya Empindi oba Effumbe. Mu luzannya olwasoose ku Mmande, Empindi yawanudde ggoolo 1-0.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu