
rooney
WAYNE Rooney, eyali ssita wa ManU, yalinnye ennyonyi kipayoppayo okugenda e Bungereza atandike enteeseganya ne Derby County.
Rooney asambira mu DC United eya liigi ya Amerika era endagaano gy'alina nabo, ebuzaako omwaka gumu n'ekitundu eggweeko. Wabula bwe yawulidde nti Derby emunoonya emuwe omulimu, n'adduka za mbwa agende ateese nabo.
Kigambibwa nti abakungu ba Derby, banoonya mutendesi anaasikira Frank Lampard eyaweereddwa ogw'okutendeka Chelsea. Sizoni ewedde, Derby kata yeesogge Premier wabula Aston Villa n'egiremesa bwe yagikubira mu kakung'uunta akaali kasembayo, akaali kagireeta mu Premier.
Derby County eyagala okutwala Rooney, bamuwe ogw'obuzannyi nga mu kiseera kye kimu nga ye mutendesi.