TOP

Abeebikonde bayomba lwa kubasalako

Added 7th August 2019

Abaddukanya ebikonde mu ggwanga bakukkulumidde Gavumenti olw'okubawa ebifo ebitono ku ttiimu egenda mu mizannyo gya Afrika

 Joshua Tukamuheebwa ku kkono ng'attunka ne Yasin Adinan mu z'okusunsula

Joshua Tukamuheebwa ku kkono ng'attunka ne Yasin Adinan mu z'okusunsula

Ekibiina ekiddukanya ebikonde mu ggwanga ekya UBF, si kimativu n'omuwendo gw'abazannyi abaayisiddwa okukiikirira Uganda mu mizannyo gya Afrika.

Kiddiridde akakiiko ka Olympics aka UOC, okuyisa tiketi z'abazannyi  munaana bokka ku 15 UBF be yabadde etegese.

"Ebikonde gye gimu ku mizannyo egisinga okuwangulira Uganda emidaali mu mpaka ez'omuzinzi. Twasabye UOC etukkirize okufuna amakubo amalala tusake ensimbi ezinaatusobozesa okutwala ttiimu ejjudde," Moses Muhangi pulezidenti wa UBF  bwe yagambye.

Emizannyo gino gyakubeera mu kibuga Rabat ekya Morocco wakati wa August 19 ne 31.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Walukagga ne muwala we e Maya.

Omuyimbi Walukagga awonye o...

Omuyimbi Mathias Walukagga alula. Ku Mmande, Walukagga yasiibye ku kitebe kya poliisi e Bukoto ekya Crime Intelligence...

Fr. Mugisha

Faaza w'e Masaka ayongedde ...

FAAZA Richard Mugisha eyagugumbula abanene mu Gavumenti nga bw'awaana Bobi Wine azzeemu okuta akaka n'alabula...

Omubaka Allan Ssewanyana ng'awayaamu ne bannamateeka be.

Omubaka Ssewanyana ayimbuddwa

OMULAMUZI wa kkooti y'e Makindye Jude Okumu ayimbudde omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana n'abawagizi be...

Omugenzi Takia Namijumbi.

Eyali RDC w'e Mityana afudde

HAJATI Takia Namijumbi eyaliko omubaka wa Pulezidenti (RDC) e Mityana n'e Mpigi afudde enkya ya leero. Waafiiridde...

Omugenzi Omulangira Jjuuko

Eyali ssentebe w'omu Kiseny...

OKUZIIKA kw'Omulangira Jjuuko Mutebi abadde ssentebe wa NRM mu Muzaana zzooni mu Kisenyi mu Kampala era eyaliko...