TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Ekkobe lirwanira semi mu Bika by'Abaganda

Ekkobe lirwanira semi mu Bika by'Abaganda

Added 7th August 2019

Ekkobe lidding'anye n'Ekinyomo mu mpaka z'Ebika by'Abaganda nga liwera kutuuka mu semi liddemu okuwangula ekikopo kino kye lyasemba okuwangula mu 2008

 Julius Kizito owa Namakaka (ku kkono), ne Moses Mukwaya ow'Embogo. Embogo yawangudde ggoolo 4-2 omugatte, ne yeesogga semi

Julius Kizito owa Namakaka (ku kkono), ne Moses Mukwaya ow'Embogo. Embogo yawangudde ggoolo 4-2 omugatte, ne yeesogga semi

Lwakuna Mu Bika by'Abaganda e Wankulukuku;

Kinyomo - Kkobe 10:00

Ogwazannyidwa

Mbogo 3-1 Namakaka

TTIIMU y'Ekkobe ekomeddewo Ekinyomo mu mpaka z'Ebika by'Abaganda, n'ekigendererwa ky'okwesogga semi.

Mu gwasookawo e Wankulukuku, Ekkobe lyakuba Ekinyomo ggoolo 3-0, nga kati banoonya maliri mu gw'okudding'ana ku Lwokuna beeyongereyo.

Wabula n'Abekinyomo baweze nga bwe bagenda okwewuunyisa Ekkobe nga baliwangula, baliwandule mu mpaka zino.

Ttiimu eneeyitawo ku  Kkobe n'Ekinyomo yakusisinkana anaabeera ayiseewo ku  Nkima oba Ente.

Mu mirala, bazzukulu ba Kayiira, Abembogo balinze anaayitawo wakati w'Effumbe n'Empindi. Embogo  yawangudde  Mmamba Namakaka ggoolo 3-1, n'egiwandula ku mugatte gwa ggoolo 4-2. Mu gwasooka baali bagudde maliri (1-1).

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mutumba eyakumye ku nnyumba ye omuliro ne mufiiramu bbebi we Nambooze

Akumye ku famire ye omuliro...

Ronald Mutumba okuva mu mbeera kiddiridde okukubira nga mukyala we Annet Mirembe amasimu nga tagakwata ate ng'olumu...

Abakulembeze mu Kawempe ben...

ABAKULEMBEZE ba LC mu Kawempe balaze obwennyamivu eri balandiroodi abasusse okugobaganya abapangisa nga babanja...

"Abatakisi bafunye obukodyo...

POLIISI erabudde nti egenda kukola ekikwekweeto ku batakisi abasiize endabirwamu z’ebidduka byaber langi nga bagenderera...

Gav't ekkirizza abagwiira 1...

UGANDA ekkirizza abagwiira 165 abaali basiibirwa muno ng’eggadde ensalo olw’obulwadde bwa COVID 19 okudda ewaabwe....

Fred Enanga

Ettemu n'okusobya ku baana ...

EBIKOLWA by’ettemu n’okusobya ku baana bikudde ejjembe mu biseera by’okwekuuma obulwadde bwa ssenyiga era poliisi...