TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Eyali ssita wa Arsenal alumbye Koscielny

Eyali ssita wa Arsenal alumbye Koscielny

Added 7th August 2019

Koscielny azannyidde Arsenal emipiira 351 okuva lwe yagyegattako mu 2010

Koscielny (ku kkono) ng'attunka ne Adama Traore eyali mu Boro mu sizoni ya 2016-2017.

Koscielny (ku kkono) ng'attunka ne Adama Traore eyali mu Boro mu sizoni ya 2016-2017.

Eyali omuteebi wa Arsenal, Ian Wright agugumbudde omuzibizi Laurent Koscielny eyayabulidde ttiimu eno n'agamba nti engeri gye yeeyisizzaamu teri pulofeesono.

Koscielny, yeegasse ku Bordeaux eya Bufalansa ku bukadde bwa pawundi 4.6 nga kino kiddiridde omuzannyi ono okugaana okugenda ne Arsenal mu Amerika gye yazannyira egy'omukwano.

Wadde nga omutendesi Unai Emery yayogera n'omuzannyi ono enfunda eziwera amukkirizise okugenda ne ttiimu, Koscielny yeerema okugenda ng'agamba nti si mumativu n'engeri Arsenal gy'eddukanyibwamu.

Wano Wright w'agambidde nti omuzannyi ono yalaze obutali bugunjufu eri ttiimu eno gy'azannyidde emyaka mwenda miramba era asaanidde abaviire.

Omuzannyi ono bwe yabadde ayanjulwa mu Bordeaux, yalabikidde mu katambi nga yeeyambula omujoozi gwa Arsenal gwe yabadde ayambalidde ku ngulu nga munda alinamu ogwa ttiimu ye empya.

Kino Wright agamba nti nakyo kyoleka obutabeera pulofeesono bw'Omufalansa ono kubanga yatyobodde nnyo ttiimu gy'abadde azannyira.

Koscielny azannyidde Arsenal emipiira 351 mu myaka omwenda gy'agimazeemu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Aikoru n'abaana baabadde atulugunya.

Abadde asuza abaana mu kaab...

OMUKAZI Juliet Aikoru ow’e Kazo Angola akwatiddwa ng’abadde amaze ebbanga ng’atulugunya abaana ba muggyawe be yalekera...

Ab'ewa Kisekka bazzeemu oku...

Amasasi ne ttiyaggaasi binyoose ewa Kisekka nga poliisi egumbulula abasuubuzi ababadde bakedde okwegugunga nga...

Bamukutte mu bubbi ne yeeka...

"Nnaliko omubbi ne mbuvaamu nga mu kiseera kino sirina mulimu wabula maama ampa buli kyetaago siraba lwaki nziba,...

Poliisi ekutte Sipapa

Poliisi ekutte Sipapa

Patrick Onyango omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano bwe yatuukiriddwa ku ssimu yakakasizza okukwatibwa...