TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Effumbe liwera kuwangula Mpindi mu gy'Ebika

Effumbe liwera kuwangula Mpindi mu gy'Ebika

Added 12th August 2019

Effumbe n'Empindi battunka mu mipiira gy'Ebika by'Abaganda nga buli ludda lulwanira semi

 Rashid Kawuma Katoito ow'Ekkobe (ku kkono) ng'attunka ne James Ssenyomo ow'Ekinyomo. Ekkobe lyesozze semi y'emipiira gy'Abaganda bwe lyawangudde ku mugatte gwa ggoolo 4-1

Rashid Kawuma Katoito ow'Ekkobe (ku kkono) ng'attunka ne James Ssenyomo ow'Ekinyomo. Ekkobe lyesozze semi y'emipiira gy'Abaganda bwe lyawangudde ku mugatte gwa ggoolo 4-1

Mu bika e Wankulukuku

Ffumbe  - Mpindi, 10:00

Egyazannyidwa;

Kkobe 1-1 Kinyomo

Nte 2-1 Nkima

BAZZUKULU ba Walusimbi Abeffumbe baddinganye n'aba Mazige Abempindi, nga banoonya ggoolo ezisukka mu emu okusobola okwesogga semi z'emipiira by'Abaganda.

Empindi yawangudde Effumbe ggoolo 1-0  mu luzannya olwasoose e Wankulukuku,  nga Effumbe okweyongerayo lirina kuwangula 2-0. Ttiimu eneeyitawo  yaakuttunka n'Embogo eyawanddemu Emmamba Namakaka.

Mu ngeri y'em,  Enkima yawanduddemu Ente ku njawulo ya ggoolo gye yateebedde ku bugenyi (e Wankulukuku mu maka g'Ente).

Wadde Ente yawangudde ggoolo 2-1, Enkima yayiseewo olw'okugiteebamu nga badding'anye kuba mu gwasoosa yawangula 1-0 ku kisaawe e Kasana (Enkima gy'ekyaliza).

Ku semi, Enkima yakuttunka n'Ekkobe eryawanduddemu Ekinyomo ku mugatte gwa ggoolo 4-1. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaana nga bagumbye ku

Bakubye ssengaabwe mu mbuga...

ABAANA batutte ssengabwe mu kakiiko k'eggombolola y'e Kyazanga nga bamulumiriza okubawuddiisa ne yezibika obukadde...

Komakech n'ebizibiti bye ku poliisi y'e Kawanda.

Abadde yakayimbulwa e Luzir...

Komakech ategeezezza nga bwabadde agenda okufa enjala nga yali asiiga njala z’abakazi wabula okuva bwe bayimiriza...

Testing video to see if it ...

aojdjadjdadojajdndn

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo