TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Emery tamanyi Ozil ne Kolasinac we banaddiramu kuzannya

Emery tamanyi Ozil ne Kolasinac we banaddiramu kuzannya

Added 12th August 2019

Ozil ne Kolasinac yaalumbibwa abazigu abaalina ebiso nga baagala okubanyagako ebyabwe.

 Mesut Ozil (ku kkono) ne Kolasinac bwe baali mu kutendekebwa kwa ttiimu.

Mesut Ozil (ku kkono) ne Kolasinac bwe baali mu kutendekebwa kwa ttiimu.

Omutendesi wa Arsenal, Unai Emery agambye nti tamanyi lunaku lutuufu bazannyi be Mesut Ozil ne Sead Kolasinac lwe banaddamu kuzannyira ttiimu esooka.

Abazannyi bombi, baalumbibwa abazigu abaali bakutte ebiso ne babatiisatiisa okubatta era okuva olwo babadde tebazannyira ttiimu yaabwe.

Arsenal yawangudde Newcastle ggoolo 1-0 mu Premier ku Ssande eyateebeddwa Pierre Aubameyang kyokka Ozil ne Kolasinac omupiira guno tebaagubaddemu wadde okubeera ku ttiimu eyagenze.

Kyategeezeddwa nti abazannyi bano baayongeddwa obukuumi mu maka gaabwe era ng'entambula zaabwe zonna abakugu mu byokwerinda be bazikolako.

Emery yagambye nti yandibadde musanyufu singa Ozil ne Kolasinac babeerawo nga battunka ne Newcastle ku Lwomukaaga kyokka talina buyinza.

Yagasseeko nti abeebyokwerinda balina okusooka okukakasa nti bano bombi banaabeera mu mbeera ntuufu okuzannya.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'ewa Kisekka bazzeemu oku...

Amasasi ne ttiyaggaasi binyoose ewa Kisekka nga poliisi egumbulula abasuubuzi ababadde bakedde okwegugunga nga...

Bamukutte mu bubbi ne yeeka...

"Nnaliko omubbi ne mbuvaamu nga mu kiseera kino sirina mulimu wabula maama ampa buli kyetaago siraba lwaki nziba,...

Poliisi ekutte Sipapa

Poliisi ekutte Sipapa

Patrick Onyango omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano bwe yatuukiriddwa ku ssimu yakakasizza okukwatibwa...

Abaserikale nga bakutte Kirumira.  Mu katono ku kkono ye Namulindwa n'omwana we gw'agamba nti Kirumira yamukubisizza waya z'amasannyalaze.

Abatuuze gwe balumiriza oku...

Kirumira yategeezezza nti abantu abakubira nsonga ng'omwana yamukubidde kutwala firimu ey'obuseegu ewuwe n'ekigendererwa...