TOP

USPA yaakuddaabiriza ekizimbe ky'aboobubenje e Mulago

By

Added 12th August 2019

EMYAKA 18 ng’ekibiina omwegattira bannamawulire abasaka ag’emizannyo (USPA) bakola ebikwekweto by’okulwanyisa obubenje ku nguudo, nga bali wamu ne Standard Chartered bank, omwaka guno baakuddaabiriza ekizimbe omujjanjabirwa abafunye obubenje mu ddwaliro e Mulago.

Mu kwanjula enteekateeka y'omwaka guno, ku Mmande, Edward J Muwanga Barlow okuva mu Standard Chartered Bank yakwasizza Patrick Kanyomozi Pulezidenti wa USPA Cheeke ya bukadde butaano(5,000,000)ng'entandikwa y'okutambuza enteekateeka z'omwaka guno okulwanyisa obubenje ku nguudo.

Omulamwa gw'omwaka guno guli; ‘Tugondere amateeka g'ekkubo' era nga bwe gwali omwaka oguwedde, emikolo emikulu egy'okusomesezaako eggwanga ku bubenje n'okubwewala gyakubeerawo nga August 24, 2019 mu kibangirizi kya Mayors Garden e Lugazi.

Muwanga Barlow agamba nti kati emyaka 12 nga standard chartered bank ekolagana ne USPA wabula ebikwekweto n'okusomesa babadde basinga kubitambuliza ku bantu baabulijjo wabula ku luno baakutuukirira abakoseddwa obubenje mu malwaliro olwo baddaabirize n'ekizimbe omujjanjabirwa abafunye obubenje(Casuality Ward).

Kanyomoozi Pulezidenti wa USPA yasiimye aba Standard Chartered Bank olwokubadduukirira mu kaweefube w'okutaasa eggwanga ku kufiira mu bubenje era tebagenda kuddiriza muliro ku nsonga z'obubenje.

"Bannayuganda bannange, obulamu kya bbeeyi, ate tebuzzikawo, twewale okwogerera ku massimu nga tuvuga, okuvuga nga tutamidde ate tugondere amateeka g'ekkubo," Kanyomozi bwe yakkaatirizza.

USPA ekola ebikwekweto bino nga bajjukira bannamawulire ab'afiira mu bubenje e Kikaawula Lugazi mu 2001 okuli; Leo Kabunga, Francis Batte Junior, Kenneth Matovu, Simon Peter Ekarot n'abalala abazze bafa.

 

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bbebi gwe baasudde mu ddwaaliro

Omusajja acankalanyizza edd...

OMUSAJJA acankalanyizza eddwaliro bw'atutte bbebi n'amusuulira abasawo nga abalumiriza obutakozesa bukugu ekyaviirako...

UNRA bataddewo amaato okuso...

ABATUUZE mu ggombolola y'e Galiraaya mu disitulikiti y'e Kayunga ababadde batakyasobola kutambula olw’oluguudo...

Mmeeya Balimwezo ng’ayogera n’abamu ku basuubuzi b’omu katale k’e Nakawa.

Kaabuyonjo y'akatale k'e Na...

EYALOGA omugagga Haruna Ssentongo tannassa mbugo! Anti bamututte mu kkooti nga bbanka ya Orient emubanja obuwumbi...

Maj. Kakooza Mutale asuze k...

MAJ Roland Kakooza Mutale n’ekibinja ky'abajaasi be Basuze ku malaalo ga Kasirye Ggwanga nga bamukungubagira nebamutendereza...

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...