TOP

Ey'e Saudi Arabia ejunye Hassan Wasswa

Added 13th August 2019

Hassan Wasswa, awonye akatebe, ttiimu y'e Saudi Arabia bwemukansizza

Wasswa (mu maaso) mu kutendekebwa kwa Cranes gye buvuddeko

Wasswa (mu maaso) mu kutendekebwa kwa Cranes gye buvuddeko

OMUZIBIZI wa Cranes, Hassan Wasswa awonye akatebe, Al-Ittihad Jeddah ey'e Saudi Arabia bw'emuguze agizannyire okumala emyaka ebiri. Wasswa abadde talina ttiimu okuva lwe yasalwako Tala'ea El Gaish (Misiri) ku ntandikwa y'omwaka guno.

Yasitudde ku Mmande okugenda e Saudi Arabia okumaliriza emisoso gyonna era obudde bwonna baakumwanjula eri abawagizi.  

"Ndi musanyufu nnyo olwa ttiimu eno okundabamu ekitone era ng'enda kulwana nnyo okulaba nga ngikolerera etuuke ku buwanguzi," Wasswa bwe yategeezezza.

Al-Ittihad Jeddah ezannyira mu kibinja kya babinywera, era sizoni ewedde yamalira mu kifo kya 10 nga ku mipiira 30 ewanguddeko 9, amaliri 7 ne bagikuba 14.

Wasswa omupiira yagutandikira mu Kampala United. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

NEZIKOOKOLIMA

▶️ Abaana abakoze ebibuuzo ...

▶️  NEZIKOOKOLIMA: Abaana abakoze ebibuuzo ebyakamalirizo musigale nga mukyali baana awaka.  

Ssempijja ng'asomesa abalimi.

Okugattika ebirime kye kiku...

MINISITA w'obulimi obulunzi n'obuvubi, Vincent Ssempijja asinzidde mu disitulikiti y'e Bukomansimbi n'ategeeza...

Abakristaayo lwe basabira wabweru ku Ssande.

Obulabirizi bw'e Namirembe ...

OBULABIRIZI bw'e Namirembe buyingidde mu nkaayana z'ettaka ly'ekkanisa e Kyanja n'ebugumya Abakristaayo  okusigala...

Jonathan McKinstry (wakati) ng'abuulirira Khalid Aucho (ku kkono) ne Mike Azira (ku ddyo).

Micheal Azira naye annyuse ...

MICHEAL Azira agucangira mu kiraabu ya New Mexico United yeegasse ku bassita ba Cranes babiri abakannyuka omupiira...

Nyombi ng'alaga olubuto mw'afulumira.

Afulumira mu kapiira alaajanye

OMUVUBUKA ow'emyaka 32 alaajana oluvannyuma ly'okumulongoosa ekyenda n'atawona nga kati yeetaaga obukadde butaano...