TOP

Atendeka rugby alonze ttiimu kabiriiti

Added 13th August 2019

Guno mulundi gwakusatu nga Uganda ettunka ne Kenya mu myezi ebiri.

 Abazannyi ba Uganda mu bimyufu lwe basemba okuzannya ne Kenya.

Abazannyi ba Uganda mu bimyufu lwe basemba okuzannya ne Kenya.

Omutendesi wa Uganda mu rugby eya Lady Cranes, Edgar Lemeriga alangiridde ttiimu egenda okwambalagana ne Kenya mu mpaka za Women's Rugby World Cup Qualifier eziyindira e South Afrika mu Bosman Stadium. Ensiike eno yaakubaawo leero ku Lwokubiri ekiro.

 unnayuganda ngayita ku annakenya Munnayuganda ng'ayita ku Bannakenya.

 

"Guno mulundi gwakusatu nga tuzannya Kenya mu bbanga lya myezi ebiri era abawala be nnonze balina obuvumu obumala okweng'anga Kenya mu nsiike ya leero. Ku luno nnina essuubi nti tugenda kukola bulungi okusinga ku mulundi oguyise," Lemeriga bwe yagambye.

omu ku bazannyi abagenda okutandika omu ku bazannyi abagenda okutandika.

 

Faith Namugga, Yvonne Najjuma, Irene Nzige, Winnie Atyang (kapiteeni), Charity Atimango, Loy Mbabazi, Helen Gizamba, Beatrice Atim, Rosenburg kanyunyuzi, Claire Anena, Esther Tino, Peace Lekuru (amyuka kapiteeni), Asha Nakityo, Julie Nandawula ne Samiya Ayikoru.

Ku katebe kuliko; Peace Mirembe, Christine Nakayiza, Evelyne Aweku, Teddy Iwutung, Harriet Kayonjo, Agnes Nakuya, Emmanuella Oroma ne Kyoita Mary.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wabaddewo vvaawompiteewo n...

WABADDEWO vvaawompiteewo ku kisaawe kya MTN Arena e Lugogo ng'abakungu ba FUFA balondesa abakulembeze b'omupiira...

Abamu ku bayizi be basabidde.

Abayizi ba S.6 babuuliriddw...

ABAYIZI ba S6 babuuliriddwa okutwala ebigezo eby'akamalirizo bye batandika enkya ng'ensonga kuba kati batandise...

Fr. Dominic Kagoye  ng'akwasa Kironde (afukamidde wansi ) pikipiki gye baamutonedde,nnyina (mu gomesi) n'abaana be.

Omusomesa eyaziba amaaso ki...

Eyali Omusomesa wa Siniya okubala ne 'Physic's eyaziba amaaso mu ngeri eyewuunyisa ng'ali mu kibiina asomesa n'akubwa...

Museveni n'owa Tanzania bat...

Abakulembeze b'amawanga okuli owa Uganda Yoweri Museveni ne Samia Suluhu Hassan owa Tanzania batadde omukono ku...

Abaami ba Kabaka abaweereddwa eggaali.

Kabaka awadde abaami b'amag...

Ssaabasajja Kabaka asiimye n'awa abaami be abamagombolola 29 agokola essaza lye Buddu entambula. Obuyambi...