TOP

Asibiridde banne entanda

Added 13th August 2019

Kafulu wa ddigi Aviv Orland asabye banne obutatiitira nga batuuse mu mpaka za Afrika.

 Abavuzi ba ddigi nga battunka.

Abavuzi ba ddigi nga battunka.

Nga ttiimu y'eggwanga eya ddigi yeetegekera empaka za Afrika eza ‘FIM Africa Motorcross Championship' ezigenda okubeera e Zimbabwe nga August 30, Aviv Orland akubirizza banne okuba abavumu basobole okufunira eggwanga obuwanguzi.

Aviv y'omu kw'abo abavuzi abatiibwa mu mpaka zino olw'obumanyirivu n'omutima gw'alina era abamu ku bavuzi b'omu Afrika bamuwanda lulusu wadde nga ku mulundi guno tagenda olw'obuvune bwe yafuna mu kugulu.

 viv ngali ku ddigi ate ku kkono nga bwafaanana Aviv ng'ali ku ddigi ate ku kkono nga bw'afaanana.

 

Okuwa banne obubaka buno, yasinzidde mu kutendekebwa okwabadde e Busiika. Yagambye nti, "Ng'enda kusubwa empaka zino wabula kino tekibamalaamu maanyi. Wadde siriiwo, ttiimu eriko abavuzi abalungi era mwenna mulina okusigala nga mwekkiririzaamu."

Omwaka oguwedde, Uganda yakwata kyakusatu e Zimbabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...