
Bisaso(ku kkono) ng'aliko by'afalaasira abazannyi
NGA Proline yeetegekera okudding'ana ne Masters Security mu CAF Confederations Cup, abakungu baayo basindise abadde omutendesi Shafik Bisaso, e Sweden okwongera okubangulwa.
Ku Lwokusatu, Proline yakubiddwa ggoolo 5-4 eza paneti, mu mpaka za ‘Pisner Super 8' ez'okulwanira ebifo (5-8), nga mu ddakiika 90 baasose kulemagana 1-1. Kati Proline yaakwambalagana ne Tooro United nga balwanira anaakwata ekyomusanvu, sso nga URA erinze Wakiso okuvuganyiza ku kyokutaano.
Bisaso asindikiddwa mu Eskilsmine FC ey'ekibinja ekyokuna mu liigi y'e Sweden gy'anaamala emyaka ebiri ng'abangulwa wansi w'abatendesi baayo, n'oluvannyuma akomewo akwatagane n'abatwala Proline okulaba nga bagiteeka ku mutindo gw'ensi yonna.
"Kino tekigudde bugwi. Ttiimu emaze emyezi egiwerako ng'ekifumba okutuusa lwe kyawedde," Bisaso eyabadde mu mitambo gya ttiimu eno omulundi ogusembayo ku Lwokusatu, bwe yategeezezza.
"Eskilsmine FC yatuwadde omukisa okusindikayo omutendesi omu, era twabadde tetusobola kwekiika mu kkubo lya Bisaso," Mujib Kasule, nnannyini Proline bwe yategeezezza.
Baker Mbowa ne Isa Sserwanja be basigadde mu mitambo gya ttiimu eno okutuusa ng'erangiridde ekiddako.