TOP

Abeebikonde boongeddwaamu ebirungu

Added 15th August 2019

Ttiimu y'eggwanga eyeebikonde yeeyongeddemu ebbugumu olw'ensimbi ezibasuubiziddwa

 Ttiimu ya The Bombers  mu kkomera e Luzira gy’abadde yakuba enkambi. Wakati mu nkonfiira enzirugavu ye Moses Muhangi. Amuddiridde ku kkono  y’amyuka akulira emizannyo e Luzira ASP Robert Lwanve ne ASP Papus Muhurizi, ow’ensambaggere ne taekwondo.

Ttiimu ya The Bombers mu kkomera e Luzira gy’abadde yakuba enkambi. Wakati mu nkonfiira enzirugavu ye Moses Muhangi. Amuddiridde ku kkono y’amyuka akulira emizannyo e Luzira ASP Robert Lwanve ne ASP Papus Muhurizi, ow’ensambaggere ne taekwondo.

Bya Fred Kisekka

EKIBIINA ekiddukanya ebikonde mu ggwanga ekya Uganda Boxing Federation (UBF), kitaddewo kavvu ku buli mudaali ogunaawangulwa abazannyi ba ttiimu y'eggwanga ‘The Bombers'.

Abeebikonde be bamu ku bazannyi ba Uganda abagenda mu mizannyo gya Afrika egitandika nga August 19, mu kibuga Rabat ekya Morocco, gikomekkerezebwe nga August 31.

Moses Muhangi,  pulezidenti wa UBF, yagambye nti buli anaawangula omudaali gwa zaabu waakuweebwa 2,000,000/-,  feeza (1,500,000/-)  ate ow'ekikomo afune 1,000,000/-.

"Twagala abazannyi baffe bazannye ng'emitima gibali wamu, kye tuvudde tubateerawo ebirabo bino," Muhangi bwe yannyonnyodde.

The Bombers yagendeddemu abazannyi munaana, abasajja mukaaga; Shadir Musa Bwogi, Isaac Masembe, Champion Busingye, Joshua Tukamuheebwa, David Kavuma Ssemujju, Solomon Geko,  n 'abawala babiri; Jalia Nali ne Hellen Bakaleke.

Ttiimu ya The Bombers  mu kkomera e Luzira gy'abadde yakuba enkambi. Wakati mu nkonfiira enzirugavu ye Moses Muhangi. Amuddiridde ku kkono  y'amyuka akulira emizannyo e Luzira ASP Robert Lwanve ne ASP Papus Muhurizi, ow'ensambaggere ne taekwondo.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Buli musajja gwe nfuna ande...

NZE Joan Nankya mbeera Kyebando mu zzooni ya Kanyanya. Twasisinkana ne baze my 2017 e Bwaise mu mbaawo nga ntambuza...

Omuwala gwe njagala ang'amb...

NNINA emyaka 23 ate omuwala gwe njagala alina emyaka 19. Omuwala ono kati angamba nti simalaako kubanga tetumalira...

Matia Lubega eyabula ku bakadde be

Eyabula kati emyezi ebiri y...

Omwana eyabula kati emyezi ebiri nga n'okutuusa kati tannamanyikako mayitire yeeraliikirizza bazadde be nga bagamba...

Omuwala atuuyanidde mu ofii...

OMUWALA agambibwa okubba ensimbi emitwalo 290,000/= ku muvubuka yakiguddeko omuvubuka bwe yamuguddeko mu Kampala...

Ensi kuyiiya: Wuuno nnamuka...

ABAVUBUKA bangi banyooma emirimu olwo ne badda mu kwekubagiza nga bwebatalina mirimu n’obwavu obubalemesa okubaako...