TOP
  • Home
  • Rally
  • Bakateete basatizza ttiimu ya ddigi

Bakateete basatizza ttiimu ya ddigi

Added 15th August 2019

Obutabawo bwa taata, bwandiremesa Bakateete okukiikirira Uganda mu mpaka za Afrika eza ddigi.

 Okuva ku kkono Shamirah Kateete, Sharifah Kateete, Shadia Kateete ne Talha Kateete

Okuva ku kkono Shamirah Kateete, Sharifah Kateete, Shadia Kateete ne Talha Kateete

Ttiimu ya Uganda eya ddigi eguddemu nnabe, famire y'aba Kateete bweraze nga bw'eyinza obuteetaba mu mpaka za Afrika eza ‘FIM Motocross Championship' ezigenda okubeera e Zimbabwe omwezi guno nga 30.

Sharifah, Shadiah, Talhah ne Shamirah Kateete be bamu ku bavuzi 37 abalangirirwa ku ttiimu egenda okukiikirira Uganda wabula okusinziira ku nnyabwe Nampijja Kateete, taata w'abaana be (Adbu Kateete) tali mu ggwanga ekitadde essuubi ly'abaana be okwetaba mu zino mu lusuubo.

 harifah ateete ku ddigi Sharifah Kateete ku ddigi

 

"Tulinza obutagenda Zimbabwe kubanga bba wange taliwo. Waliwo eyabadde ayagala okutwalako omwana omu wabula tetunnamanya oba anaatukiriza okusaba kwe," Nampijja bwe yagambye.

 hadiah ateete ku ddigi Shadiah Kateete ku ddigi

 

Uganda omwaka oguwedde yamalira mu kifo kyakusatu mu mpaka zino wabula ng'omwaka guno yeetaaga okugenda n'abavuzi abawera okutangaza emikisa egiwangula engule eno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Loodi Meeya Erias Lukwago ngakyazizza dayirekita wa Kampala omuggya, Dorothy Kisaka

Loodi meeya akyazzizza dayi...

  Ababiri basoose mu kafubo mu ofiisi za Loodi Meeya okumala essaawa bbiri nga bateesa. Lukwago yamwanjulidde...

Gav't etandise okugabira Ba...

GAVUMENTI etandise okugabira Bannakampala masiki eziyamba okutangira ssenyiga omukambwe kyokka abamu ku ba LC abaazikwasiddwa...

Kazinda ng'aleeteddwa mu kkooti

Kazinda ayolekedde okuyimbu...

EYALI omubalirizi omukulu mu ofiisi ya Katikkiro wa Uganda Geoffrey Kazinda ayolekedde okuyimbulwa mu kkomera e...

Kitatta ng'ali mu kaguli ka kkooti

Abudallah Kitatta ayimbuddw...

Hajji Abudallah Kitatta eyali omuyima wa bodaboda 2010 ayimbuddwa okuva mu kkomera gy'amaze emyaka 3.

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...