
Omuteebi wa KCCA omuggya Simon Serunkuma (ku ddyo), ng'alwanira omupiira n'omuzibizi wa Onduparaka Gasper Alex. KCCA yawangudde ggoolo 3-1 ne yeesogga fayinolo ya Pilsner Super 8. Ekif. Silvano Kibuuka
Mu Pilsner Super 8
(Fayinolo)
Vipers SC - KCCA FC
OLUTALO ku ani munene w'omupiira gwa Uganda wakati wa KCCA ne Vipers sizoni eno lutandikiddde mu mpaka za Pilsner Super 8.
Ttiimu zombi zisisinkanye ku fayinolo y'empaka zino egenda okuzannyibwa ku Ssande nga August 25, oluvannyuma lwa KCCA okukuba Onduparaka ggoolo 3-1 ku semi eyazannyiddwa ku Lwokutaano, sso nga Vipers yawangula Mbarara City 5-3 eza peneti. Baasooka kulemagana 1-1 mu ddakiika 90.
KCCA okusitukira mu kikopo kya liigi sizoni ewedde, yakiggye ku Vipers gye yasinzizza obubonero 7. Yalina 66, nga Vipers eri ku 59.
Eno si ye fayinolo ya ttiimu zino esoose. Mu Super Cup, gwaggwa 0-0 mu ddakiika 90, KCCA n'ewangulira ku peneti, ate mu Uganda Cup mu 2018 e Bukedea, KCCA era yawangula ggoolo 1-0.