TOP

Eya rugby ezzeemu essubi

Added 18th August 2019

Ttiimu y'eggwanga eya rugby, efunye ku ssuubi bw'ewangudde ey'e Zambia mu Victoria Cup

  Brian Asaba (alina omupiira), Charles Uhuru ne Asuman Mugerwa nga bayita mu kisenge kya Zambia

Brian Asaba (alina omupiira), Charles Uhuru ne Asuman Mugerwa nga bayita mu kisenge kya Zambia

Rugby Cranes, ttiimu y'eggwanga eya rugby, efunidde Uganda obuwanguzi obusooka ku butaka mu Victoria Cup, abawagizi n'abazannyi ne babula okufa essanyu. Mu gyasooka Kenya ne Zimbabwe zaabawangula.

Uganda yakubye Zambia ku bugoba 38-33, ku Lwokumaaga, ku kisaawe kya Kyaddondo n'etaangaaza ku mikisa gy'okutwala ekikopo kino ekiwakanirwa amawanga ana (4); Kenya, Zimbabwe, Zambia ne Uganda.

Wabula wadde guli gutyo, Uganda eri ku kibalo kya ssaala  nga kw'etadde  n'okukola ennyo okuwangula emipiira ebiri egisigadde gye bagenda okuzannyira ku bugenyi. Esigazza kukyalira Zambia ne Zimbabwe okudding'ana.

Omutendesi Robert Seguya yategeezezza nti; "Twakawangula emipiira ebiri ne Kenya ebiri, ate nga tukubiddwa ebiri. Zimbabwe abalina ekikopo bawangudde enzannya zaabwe zonna ennya. Singa ffe ne Kenya tubakubira ewaabwe ne tukuba ne Zambia mu kidding'ana olwo ttiimu zonna zijja kuba nga zeenkana, badde kw'asinze okukola obulungi", Seguya bwe yategezezza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh ng'annyonnyola okutalaka mu Busiraamu.

▶️ TAASA AMAKAGO: OKUTALA...

TAASA AMAKAGO: OKUTALAKA MU BUSIRAAMU KYE KI?

Lumbuye Nsubuga mmeeya wa Makindye Ssaabagabo (ku kkono), minisita Magyezi ne  Mbabazi RDC wa Wakiso nga balaga sitampu z’ebyalo ezaatongozeddwa.

▶️ Gavumenti etongozza si...

GAVUMENTI entongozza sitampu z'ebyalo, minisita wa Gavumenti ezeebitundu Raphael Magyezi n'alabula abakulembeze...

Owa LDU, Emmanuel Ogema (ku kkono), David Owiri (amuddiridde), Vincent Olenge ne Jakis Okot (ku ddyo) abaakwatiddwa.

▶️ Owa LDU bamukwatidde mu...

OMUJAASI wa LDU bamukwatidde mu kibinja ky'abakukusa amasanga n'ebitundu by'ensolo z'omu nsiko eby'omuwendo. ...

Papira (ku kkono), Acieng, Kobugabe ne Isaac Mukasa, akulira engule za Fortebet Real Star Monthly Awards. Mu katono ye Komakech.

Owa Hippos ajja kusinga Ony...

FLORENCE Acieng, nnyina wa ggoolokipa wa Hippos (ttiimu y'eggwanga ey'abali wansi w'emyaka 20), agambye nti mutabani...

Minisita Kitutu

Gavumenti yaakuwa abantu 30...

GAVUMENTI eyanjudde enteekateeka okuddamu okugabira amaka 300,000 mu byalo amasannyalaze okutandika ku Mmande ya...