
Shaqiri ng'asanyukira ggoolo gye yakuba ManU sizoni ewedde.
OMUWUWUTTANYI wa Liverpool, Xherdan Shaqiri atadde omutendesi we Jurgen Klopp ku nninga amunnyonnyole lwaki tamuwa mupiira.
Omuzannyi ono agamba nti ali ku ffoomu kyokka yeebuuza lwaki atandikira ku bbenci.
Sizoni ewedde, omuzannyi ono, yazannya emipiira 24 gyokka nga 13 ku gino, yajja nga sabusityuti.
Sizoni eno, omuzannyi ono atandise ne ffoomu kyokka mu mipiira egyasoose gyonna atandikira ku bbenci.
Mu gwa Community Shield, yazannyeeko eddakiika musanvu zokka.
Omuzannyi ono enzaalwa ya Switzerland, yategeezezza abaamawulire ku butaka nti yeewuunya lwaki tatandika ate ng'alaba abazannyi bangi Klopp b'afiirako abasinga.
Ennamba y'omuzannyi ono Sadio Mane ne Mohamed Salah be baagiwamba, era kyandiba ekizibu okubaliivula.
Liverpool bwe yabadde eyambalagana ne Southampton ku Lwomukaaga, Klopp yatandisizza Alex Chamberlain, Shaqiri ky'agamba nti kyayongedde okumumalamu amaanyi.
Wabula mu kumwanukula, agava mu ttiimu eyo gagamba nti Klopp yategeezezza nti buli muzannyi alina okugumiikiriza kuba alina bangi era bombi tasobola kubatandisa.