TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Aubameyang, Pepe ne Lacazette baakutandika ogwa Liverpool

Aubameyang, Pepe ne Lacazette baakutandika ogwa Liverpool

Added 19th August 2019

Arsenal yawangudde emipiira gyayo ebiri egisoose nga gwe mulundi ogusoose mu sizoni ya 2009-2010.

 Aubameyang omuteebi wa Arsenal ng'asiba omupiira ku gwa Newcastle.

Aubameyang omuteebi wa Arsenal ng'asiba omupiira ku gwa Newcastle.

Omutendesi wa Arsenal, Unai Emery asuubizza okuyungula abateebi be bonsatule bwe banaaba bakyalidde Liverpool ku Lwomukaaga mu Premier.

Arsenal, yawangudde emipiira gyayo ebiri egisoose mu Premier era eyagala kuwangula gwakusatu ng'ekuba Liverpool nayo ewangudde emipiira ebiri egisoose.

Abazannyi ba Arsenal abasatu abali ku Kyoto okuli; Pierre Aubameyang, Nicholas Pepe ne Alexandre Lacazette bonna babadde tebannatandikayo mupiira gwonna nga bali wamu kyokka Emery agamba nti kano ke kaseera abatandise.

Lacazette ne Pepe baateebye ggoolo zombie bwe baabadde bawangula Burnley ggoolo 2-1 era Emery agamba nti kye kiseera ekituufu bombi okutandika.

Bano baakugwisa bwenyi ne Mohamed Salah, Sadio Mane ne Roberto Firmino abakulembera ekyoto kya Liverpool.

Wiikendi wedde, batabani ba Jurgen Klopp baawangudde Southampton ggoolo 2-1 nga mu kiseera kino be bali ku ntikko ya Premier ku bubonero mukaaga mu mipiira ebiri.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...