TOP

Coutinho bamwagalizza mikisa

Added 20th August 2019

Coutinho yeegasse ku Bayern ku bbanja okuva mu Barcelona

Coutinho

Coutinho

JURGEN Klopp, atendeka Liverpool, ayagalizza Philippe Coutinho obuwanguzi mu Bayern gye yagenze.

Liverpool ye yatunda Coutinho mu Barcelona kyokka abadde alemeddwa okwaka era ne baagala bamutunde. Mu Liverpool, gye baali baagala okumuzza wabula Klopp n'ategeeza nti talina w'agenda kumuzannyisa.

Arsenal, yali emu ku ttiimu ezaagala okumwogereza kyokka eno Coutinho yagaananyo n'ategeeza nti waakiri akatebe ka kamwokye mu Barcelona naye nga tagenze mu Arsenal.

 klopp

 

Wabula Bayerm yamuwonyezza bwe yamutwalidde ku bbanja.

Klopp agamba nti; "Coutinho twabadde tetusobola kumuzza wadde ng'ekitone akirina wabula mu Bayern gye yalaze, mmwagaliza buwanguzi."

Ensimbi Liverpool ze yatundamu Coutinho, baazigulamu omuzibizi Virgil van Dijk ne ggoolokipa Alisson.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ensi ekalubye omukazi ow'em...

Nansubuga agamba ku myaka 75 asoboola okwetuusaako buli kimu.

Dr. Diana Atwine n'abakulu abalala nga balambula eddwaaliro

Dr. Atwine alagidde eddwali...

MINISITULE y'ebyobulamu ekkirizza eddwaliro ly'e Kayunga erimaze emyaka ebiri nga liddaabirizibwa litandike okujjanjaba...

Ssekandi ayozaayozezza Bann...

OMUMYUKA wa Pulezidenti Edward Kiwanuka Ssekandi ayozaayozezza Bannamasaka okusajjakula ne bafuna City nga ne disitulikiti...

Kagimu ku kkono ng'awaanyisiganya ebisongovu ne ssentebe Ssebunya ku ddyo.

Ekkubo litabudde meeya Kagi...

Ekkubo lyatabudde meeya wa munisipaali y’e Mukono, George Fred Kagimu n’abatuuze abakozesa ekkubo eriyita okumpi...

Omugagga Ham eyakulembeddemu bannanyini bizimbe mu lukiiko ne Amelia Kyambadde

Bannanyini bizimbe balemedd...

AKAKIIKO kebassaawo okubaga ebinaagobererwa kisobozese okuggulawo akeedi z’omu Kampala kamalirizza lipooti eno...