TOP
  • Home
  • Mupiira
  • URA emalidde mu kyakutaano mu za Super 8

URA emalidde mu kyakutaano mu za Super 8

Added 20th August 2019

URA FC ewangudde Wakiso Giants mu mpaka za Pilsner Super 8

 Said Kyeyune owa URA, y'omu ku baagiteebedde.

Said Kyeyune owa URA, y'omu ku baagiteebedde.

Mu Pilsner Super 8

Wakiso 4 (2)- (2) 2 URA

URA FC ewangudde Wakiso Giants  ggoolo 4-2 eza peneti, n'emalira mu kyokutaano, mu mpaka za Pilsner Super 8. Mu ddakiika 90 baasoose kulemagana 2-2.

Empaka zino ze ziggya abantu ekifu  ku maaso nga liigi y'eggwanga eya 'StarTimes Uganda Premier League' tannatandika. Zeetabwamu ttiimu mukaaga ezaakulembera liigi sizoni ewedde, n'ebbiri ezasuumusibwa okuva mu Big League.

KCCA FC ne Vipers ze zaatuuse ku fayinolo ezannyibwa ku Ssande eno (August 25), era KCCA ewera kuddamu kusitukira mu kikopo kye yawangula sizoni ewedde.

Ttiimu ezeetabye mu  mpaka zino kuliko; KCCA, Vipers, Onduparaka, Mbarara City, URA, Wakiso Giants, Proline ne Tooro United.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Chiko bamuwonyezza okugwa m...

Kazannyirizi Frank Mubiru amanyiddwa nga Chiko awonye okugwa mu masiga n'okulya ebikomando. ‘‘Bannange ekintu...

Poliisi ng’eteeka ekiwuduwudu ky’omulambo gwa Kadiidi (mu katono) ku kabangali yaayo.

Akkakkanye ku jjajjaawe n'a...

Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Rwengwe II ekisangibwa mu ggombolola y’e Kinkyenkye, mu disitulikiti y’e...

Poliisi ekyanoonyereza ku b...

OMWOGEZI w’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango, Charles Twine yagambye nti okunoonyereza...

Kenzo ne banne. Mu katono ye Bobi Wine

Kiki ekiri emabega wa Kenzo...

Lubega agamba nti ekintu kya Kenzo kyapangibwa aba People Power okumusosonkereza nga bamujooga aggweemu essuubi...

Kenzo bye yayogedde ku Bobi...

Waliwo ne Bannayuganda abali emitala w’amayanja naddala Dubai abaamusabye aleme kuddamu kulinnya mu nsi zaabwe...