TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Ttiimu za Premier 3 ziswamye musaayimuto

Ttiimu za Premier 3 ziswamye musaayimuto

Added 20th August 2019

Camavinga, wa myaka 16 era ttiimu za Premier zigamba nti akacanga nga Paul Pogba.

 Camavinga

Camavinga

WADDE akatale k'okugula abazannyi mu Bungereza kaggaddwaawo, tekiremesezza ttiimu za Premier kulondoola musaayimuto w'e Bufalansa.

Ono ye Eduardo Camavinga ow'emyaka 16 ng'azannyira mu Rennes, eyabbye ‘sho' nga bawangula PSG ggoolo 2-1 mu liigi ya Bufalansa wabula yayolesezza ekitone ekyasikirizza bangi ku baamulabye.

Ku mupiira guno, Spurs Man City ne Arsenal zaasindise basajja baazo okulaba engeri musaayimuto ono gy'azannyamu.

Mu kusooka, Camavinga yazannyanya ng'omuwuwuttanyi omuzibizi wabula n'akyusibwa okuzzibwa mu muwuwuttanyi alumba era enzannya ye yeefaananyiriza ku ya Paul Pogba.

Camavinga nzaalwa y'e Angola wabula yagenda e Bufalansa nga wa myaka 6 era kati ali mu ntegeka ezifuna obutuuze bw'e Bufalansa asobole okugizanyira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...