TOP

Omusambi atabudde omuwuubi w'akatambala n'ava mu mbeera

Added 27th August 2019

Omusambi atabudde omuwuubi w'akatambala n'ava mu mbeera

OMUZANNYI avumye omuwuubi w'ekiwero ng'amulanga obutabalamula bulungi ekyaggye omuwuubi w'ekiwero mu mbeera kata ebifuba bibabugume.

Gwabadde mupiira gwa luzannya lwaquarter Fayinolo mu mpaka za Ssemuko Cup ezazannyiddwa ku kisaawe kya Masajja ku Sunday wakati wa Black Street FC ne St Donosio.

Black Street yalabise bulungi era gwawumudde egukulembedde 1-0,nga gwakawummula omuzannyi wa St Donosio Kibuuka Morgan yalumbye James Kuteesa omuwuubi w'ekiwero ng'amunenya okubalamula obubi,Kuteesa yamunnyonnyodde nga bw'atavunaanyibwannyo ku nnamula ya mupiira kuba siyeyabadde agulamudde wabula Kibuuka tekyamumalidde era yatandise kuvuma nga awo embeera weyatabukidde.

Kuteesa yavudde mu mbeera n'ayagala okulumba omuzannyi ono  wabula abazannyi ba St Donosio bamutangidde kwossa n'okumukkakkanya newankubadde ga yasigadde yewera,ekitundu eky'okubiri kyazzeemu era  St Donosio yekakabye nefuna goolo ey'ekyenyi negukomekkerera 1-1 nga bwebaagenze mu kusimulagana Peneti Black Street yaguwangudde 4-3 bwetyo St Donosio n'ekoma awo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr. Mugisha

Faaza w'e Masaka ayongedde ...

FAAZA Richard Mugisha eyagugumbula abanene mu Gavumenti nga bw'awaana Bobi Wine azzeemu okuta akaka n'alabula...

Omubaka Allan Ssewanyana ng'awayaamu ne bannamateeka be.

Omubaka Ssewanyana ayimbuddwa

OMULAMUZI wa kkooti y'e Makindye Jude Okumu ayimbudde omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana n'abawagizi be...

Omugenzi Takia Namijumbi.

Eyali RDC w'e Mityana afudde

HAJATI Takia Namijumbi eyaliko omubaka wa Pulezidenti (RDC) e Mityana n'e Mpigi afudde enkya ya leero. Waafiiridde...

Omugenzi Omulangira Jjuuko

Eyali ssentebe w'omu Kiseny...

OKUZIIKA kw'Omulangira Jjuuko Mutebi abadde ssentebe wa NRM mu Muzaana zzooni mu Kisenyi mu Kampala era eyaliko...

Bobi Wine ng'ali e Kyegegwa.

Nja kumalawo ekibbattaka mu...

MAJ. Gen. Mugisha Muntu owa Alliance for National Transformation (ANT) asuubizza okumalawo ekizibu ky'ekibba ttaka...