TOP
  • Home
  • Rally
  • Stav Orland ayagala kweddiza ngule.

Stav Orland ayagala kweddiza ngule.

Added 28th August 2019

"Wennakoma omwaka oguwedde we njagala okutandikira ne guno mu mpaka za Afrika."

 Stav ng'atadde ddigi mu bbanga.

Stav ng'atadde ddigi mu bbanga.

NNANTAMEGGWA wa Afrika Stav Orland mu mpaka za ‘FIM Motorcross Championship' omwaka oguwedde alaliise okuddamu okukaabye bavuzi banne nga yeddiza engule mu mpaka ezigenda okubeera mu kibuga Harare ekya Zimbabwe.

Stav avugira mutendera ogwokuna (MX85cc) asuubizza eggwanga okukomawo n'obuwanguzi, oluvannyuma lw'okufuna okutendekebwa okw'amaanyi mu nsi z'ebweru.

 tav ali ku ttiimu ya ganda eri e imbabwe Stav ali ku ttiimu ya Uganda eri e Zimbabwe.

 

"Bukya mwaka guno gutandika, mbadde nnetegekera empaka zino kuba zanjawulo ate z'amaanyi nnyo gyendi. Ngenda kukola ekisoboka okulaba nga nzeddiza mpe n'abawagizi bange essanyu," Stav Bwe yagambye.

Yayongeddeko nti Abazimbabwe kumuwa nnyo buzibu. "Bangi nvuzeeko nabo omwaka guno era mbamanyi endya n'ensula mu bya ddigi wabula omuntu gwensuubira okumpa obuzibu ye Jonathan Mulimi enzaalwa y'e South Afrika kuba mulungi ate nga mbadde ntendekebwa naye e Califonia."

Empaka zino zaakutandika ku Lwokutaano nga August 30 zikomekerezebwe nga September 1.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...